
Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Katikkiro Charles Peter Mayiga agamba nti kirungi abaana abato bayigirizibwe ebyafaayo n’ennono z’abantu ab’enjawulo abasangibwa mu Uganda kibayambe okutambula obulungi mu bulamu.
Bino abyogeredde mu nsisinkano gy’ abaddemu n’abayizi ba Kabojja International School abakiise Embuga okuyiga ebifa ku Bwakabaka bwa Buganda.
Katikkiro agamba nti Uganda erimu abantu ba bika bingi, nga bonna balina ebirungi ebisobola okubayigirwako, Omuganda n’ayiga eby’omuteeso, Omusoga n’ayiga eby’Omutooro n’abalala bwe batyo. Kino bwekinaakolebwa wajja kubaawo okukwatagana okwannamaddala, olwo Uganda eyongere okukulaakulana mu bitundu byayo byonna.

Ono akubirizza abasomesa n’abazadde okuwa abaana omukisa okuyiga obuwangwa obw’enjawulo mu Uganda kibayambe bbo bennyini n’Eggwanga okutwaliza awamu. Wano era w’asabidde abayizi okutwala emisomo gyabwe nga kintu kikulu era baleme kulowooza nti basomera bazadde baabwe wabula beesomera bbo bennyini, akikaatirizza nti ebyenjigiriza biringa mmere, omuntu abyetaaga nnyo okuwangula obulamu bw’Ensi.
Minisita w’Ebyenjigiriza mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko asinzidde mu nsisinkano eno n’ategeeza nti Obwakabaka buluubirira okulaba nga abaana b’Eggwanga bafuna ebyenjigiriza eby’omutindo, nga balamu bulungi era nga bagunjulibwa ne mu mpisa ez’obuntubulamu. Bwatyo yeebaziza aba Kabojja International School olw’okujja Embuga akabonero akalaga nti bali wamu n’Obwakabaka mu kutuukiriza ebiruubirirwa byabwo.
Omuky. Anna Sundel ku lwa Bannakabojja international ategeezeza nti omukisa gwa maanyi gwe bafunye okujja Embuga naddala ku lw’abayizi baabwe okwongera okumanya ebintu eby’enjawulo okugatta kw’ebyo bye basoma mu kibiina, era yebazizza nnyo Katikkiro olw’okubawa obudde okubawa ku byafaayo bya Buganda.
Ensisinkano eno yetabiddwamu Minisita Israel Kazibwe Kitooke ow’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka, abayigisa okuva ku Kabojja International School, abayizi n’abakulembeze baabwe.









