• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Mayiga akubirizza abasuubuzi okugula emigabo kuba nagyo gifuna

Gambuuze by Gambuuze
October 4, 2023
in Amawulire
0 0
0
Owek. Mayiga akubirizza abasuubuzi okugula emigabo kuba nagyo gifuna
0
SHARES
56
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa ne Francis Ndugwa

Kampala –  Kyaddondo

Kamalabyonna Charles  Peter Mayiga asabye abasuubuzi okutandika okulowooza ku kugula emigabo mu kampuni ez’enjawulo kuba nazo zirina obusobozi okubakolera ssente.

Okwogera bino Katikkiro Mayiga abadde  mu nsisinkano ya Airtel n’abakulembeze mu Bwakabaka nga babangulwa ku nkola y’okugula emigabo mu kampuni ya Airtel etuumiddwa  “Initial Public Offer” (IPO) ku Sheraton Hotel ku Lwokusatu.

“Abasuubuzi mwetegereze eby’emigabo, mbalaba bangi abali wano era mulina amaanyi mangi eyo. Kampuni yo osobola okugiteeka mu migabo enjawulo eri emu kukola bitabo ate si bano ababikolera eno wansi naye olina kufuna ababazi b’ebitabo abategeere byebaliko nebagamba nti kampuni eno nnamu,” Owek. Mayiga bw’abakubirizza.

Owek. Mayiga asabye abantu okukomya okutya byebatamanyi naye baweeyo obudde okunoonyereza ku butuufu bw’emikisa egy’enjawulo egibalukawo buli kadde.

Okusinziira ku Katikkiro Mayiga abantu abawangaalira mu nsi ento baagala nnyo okuteeka ensimbi mu bintu byebamanyira nebyebalako nga Ssemaduuka, amayumba g’abapangisa, amasomero naye wadde bino nabyo birungi, balina okutandika okwebuuza ku bawangaalira mu mawanga nga Bulaaya engeri gyebasigamu ssente .

Mukuumaddamula  yeebazizza Airtel olw’okuwagira enteekateeka z’okutumbula abantu ba Beene mu ngeri ez’enjawulo bwatyo naasaba abantu ba Buganda okujjumbira enteekateeka eno.

Ye omukugu mu by’emigabo era Omumyuka Asooka owa Katikkiro Owek. Prof. Twaha Kaawaase Kigongo atangaazizza ku mitendera omuntu gyalina okuyitamu okusiga ensimbi nga agula emigabo.

Ono annyonnyodde  nti kyetaagisa notegeera bulungi kampuni gyogenda okugulamu emigabo, entambuza y’emirimu n’ebigendererwa byayo kuba singa ssente ogenda mu maaso okutereka ssente mu kitanda tekizza magoba era oba oterekedde bwereere.

Ono asabye abantu okufaayo bulijjo okukola ebitabo n’okubibala obulungi kuba eno yemu ku ngeri ezisobola okuyamba kampuni okugaziwa.

Ye Ssenkulu wa Airtel Murali Manoj, agamba nti enkola eno etandikidde ku ssimu so si Airtel Money nga singa omuntu agulayo emigabo asobola okukola ssente kuba abavubuka bangi nnyo mu ggwanga abettanira essimu za ‘Smart’ wadde omuwendo gw’ abazirina guli 20 ku 100 bwatyo nakakasa nti obwetaavu bw’okuzifuna bukyali bungi

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist