
Bya Ssemakula John
Sseeta – Kyaggwe
Minisita wa Bulungibwansi, Obutonde bw’ensi n’Ekikula ky’ Abantu, Owek. Mariam Mayanja Nkalubo asabye abakulembeze mu Kyaggwe ku mitendera egy’enjawulo beenyigire mu lutalo lw’okutaasa omugga Ssezibwa ogwolekedde okusaanawo.
Okusaba kuno Owek. Mayanja akukoledde ku Rhider Hotel, e Sseeta mu Kyaggwe ku Lwokutaano mu lusiisira lwa ‘Ssezibwa Catchment Area’ olutegekeddwa okutaasa ensulo z’omugga Ssezibwa.
Owek. Nkalubo agambye nti abakulembeze balina obuvunaanyizibwa okukubiriza abantu abeetolodde omugga guno okwewala ebikolwa ebikendeeza amazzi gaagwo.

Ono annyonnyodde nti abantu abagwetolodde baguyiwamu ettaka, kasasiro ate abandi baguzimbyeko nga bino byonna bitadde omugga guno mu buzibu ekintu eky’obulabe eri obutonde n’abantu abali mu kitundu kino.
Owek. Mayanja ategeezezza nti Obwakabaka bugenda kuteekawo Olukiiko olugenda okulabirira n’okulondoola awamu n’okutaasa ebifo by’Entobazi wonna mu Buganda okubitaasa ku kusaanyizibwawo.
Kinajjukirwa nti enteekateeka eno eya ‘Ssezibwa Catchment Area’, evujjirirwa bbanka y’ensi yonna ng’ejja kubuna Kampala, Wakiso, Luweero, Nakasongola, Mukono n’e Buikwe.
Omusomo gwetabiddwamu Bannampala ab’Amasaza; aba Gavumenti eyawakati ne Bannaddiini.









