Bya Muwuluzi Yusuf
Masaka -Buddu
Omumyuka w’omukubiriza w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa, y’akulembeddemu okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka egy’emyaka 65 mu ssaza ly’e Buddu.

Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gyalina okubeerawo nga 5/4/2020 wabula olw’ekirwadde kya Covid-19 ekyabalukawo mu ggwanga, gyayongezebwayo era giddukiddwa leero nga 29/10/2020 wansi w’omulamwa, “Abaami okukulemberamu okulwanyisa akawuka ka Siriimu okutaasa omwana omuwala.”
Mu ssaza Buddu, emisidde gisimbuddwa ku ssaawa emu ey’oku makya ku nnyumba enkulu eya Buddukiro mu mbuga y’essaza. Abaddusi baddukidde munda mu mbuga oluvannyuma ne bakola dduyiro mu kisaawe ky’embuga.
Owek. Ahmed Lwasa nga y’abadde omuddusi omukulu era nga y’asimbudde emisinde gino, emisinde bwe giwedde asomye obubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, ku nsonga y’omulamwa gw’emisinde gy’omulundi guno ogw’okulwanyisa akawuka ka Mukenenya.
” Tukimanyi nti obulwadde buno obusinga, businga kwegiriisiza wano mu Buganda, olw’abantu abangi okubeera mu bitundu n’okubeera wakati mu ntabiro y’ebikolebwa mu Uganda,” ebyo bye bimu ku bibadde mu bubaka bwa Katikkiro.
“Tubasaba mubeere balamu, tubasaba mubeere nga mumanya wa gye mulaga era temuggwaamu ssuubi.” Bw’atyo Owek. Lwasa bw’ategeezezza bannamasaka mu bubaka bwe. Ono era asabye bannamasaka okukola ebyobufuzi obitaliimu kusiga bukyayi.
Ye Pookino Jude Muleke ng’ono yabadde omutegesi w’emisinde gino, asabye abantu okwongera okubunyisa amawulire agakwata ku Mukenenya wamu n’obuteerabira ndwadde ndala nga Covid-19.
Emisidde gino gyetabiddwamu abantu ab’enjawulo okubadde abamyuka ba Pookino, bannabyabufuzi wamu n’ebitongole ebyenjawulo era nga bano bonna basiimye Omutanda okubeera omusaale mu kutumbula ebyobulamu.
Dick Bugembe omutandisi w’ekibiina ky’abantu abaliko obulemu nga bawangaala n’akawuka akaleeta Mukenenya mu Masaka ekya MADIPHA, asabye Ssaabasajja omulundi oguddako asiime asoosowaze abaliko obulemu ate nga balina akawuka ka Mukenenya.