
Bya Ssemakula John
Bulange Mmengo
Omumyuka w’Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Ahmed Lwasa, akubirizza abantu ba Buganda okuyiga okukkekkereza ensimbi n’ebikozesebwa kibasobozese okuyita mu mbeera y’ebyenfuna eyonooneka buli kadde.
Okusaba kuno Owek. Lwasa yakukoze ku Lwakuna e Bulange Mmengo bweyabadde atikkula Oluwalo okuva mu Bannasingo abavudde mu ggombolola ez’enjawulo.
Owek. Lwasa yategeezezza nti embeera y’ebyenfuna nkalubo nnyo mu kiseera kino kyokka nga n’ebyeetaago nabyo bingi kyokka enyingiza y’abazadde n’abantu abalabirira awaka tekyuuse bwatyo nabasaba okuyiga okukkekkereza.
Owek. Lwasa bano era abeebazizza olw’okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka n’okuwulira omulanga gwa Ssaabasajja Kabaka ne boolesa obumalirivu mu bye bakola, ne baba bakozi nnyo ate ne bafa ku maka gaabwe.

Abasabye okwongera amaanyi mu kulima ate nga balima n’ekigendererwa oky’okuganyulwa mu bye balima, obulamu bwabwe busobole okukyuuka.
Ye minisita omubeezi owa Gavumenti ez’Ebitundu, Owek. Joseph Kawuki, yasiimye Bannassingo olw’obuwagizi bwabwe eri enteekateeka z’Obwakabaka nga n’enteekateeka y’okusonda Ettoffaali yatandikira waabwe n’eryoka ebuna wonna.
Eggombolola Mumyuka Busimbi, Ssaabaddu Kassanda, Mut.v Kiganda, Mut.I Bukuya, ne Mut.VII Myanzi ze z’akiise e mbuga era baaleese bukadde 28.
Ku mukolo gwe gumu Oweek. Lwasa kwasinzidde natongoza obupande bw’Amasaza nga bulaga ebikwata ku Ssaza, era buli mwami w’essaza yakwasiddwa akapande k’essaza lye.









