• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek.  Kyewalabye Male agamba bakuzzaawo Abambowa okutaasa ettaka ly’ Amasiro

Gambuuze by Gambuuze
February 8, 2023
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek.  Kyewalabye Male agamba bakuzzaawo Abambowa okutaasa ettaka ly’ Amasiro
0
SHARES
27
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Francis Ndugwa

Masengere – Mmengo

Minisita w’Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi n’Ebyokwerinda mu Buganda David Kyewalabye Male ategeezezza nti bakuzzaawo Abambowa bakuume ettaka ly’ Amasiro okulitaasa ku bantu abeesomye okulimalawo kuba gavumenti terina basirikale bamala.

Bino Minisita Kyewalabye abyogeredde mu Masengere bw’abadde alambulula ku nteekateeka ya minisitule gyakulembera ey’omwaka guno leero ku Lwokusatu.

“Tugenda kuzzaawo ekitongole ky’ Abambowa kuba mu nnono kyekikuumi ekikuuma Kabaka n’ebintu ebirala, tubateeke mu buli masiro kuba mangi gyegali weesudde, nga omuntu wa bulijjo bwasalawo okugalumba tewaba amukuba ku mukono,” Owek. Kyewalabye Male bw’agambye.

Owek. Kyewalabye era agasseeko nti bakuddamu  okusaba Ebika okubawa abasiige abalina okubeera mu bifo bino nga bavunaanyizibwa ku nsonga ez’enjawulo kuba bakizudde nti olw’okuba ebifo bino tebibeeramu bantu, abaagala okubitwala banguyiddwa.

Owek. Male agamba nti batawaanyizibwa nnyo okukuuma ettaka lino kuba kirabika kati buli ayagala okubaako gwayiikiriza yeesimba mu Buganda kuba  bali mu ntalo ku masiro e Sserinnya ewa Ssekabaka Mawanda, e Kyebando kyokka nebitongole bya gavumenti ebyandibadde biyamba ate biringa ebiwagira abasaatuusi.

Ono era asabye abantu okumanya obuvunaanyizibwa bwabwe kuba Obwakabaka bukolebwa bakopi bwatyo nasaba abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo okusobola okukuuma ebifo nga bwebalinda amateeka agava mu gavumenti agalina okubikuuma.

Ku nsonga y’okutumbula ebyobulamuzi, Owek. Kyewalabye Male agamba nti Buganda erina eby’obulambuzi bingi ebitali bya kuyiiyiriza nga bwekiri mu mawanga amalala nalaga nti omulimu omunene gwebalina nga Minisitule kwekulaba nti biteekebwateekebwa bulungi.

Ono annyonnyodde  nti Buganda erina amasiro gaba Ssekabaka agasukka mu 20 ate 4 bali Kasubi nga kino kyokka kya bulambuzi kinene kuba amasiro gano galiko ennono, enzimba  n’enteekateeka ya  Buganda ey’edda wakati mu buyiiya obw’enjawulo okutaali Pulaani ate etali nyangu kusanga wantu wonna walala.

Owek. Kyewalabye agamba nti bakukola nnyo okulwanyisa omuze gw’okutiitiibya ebitali byawano nga okudibya olubugo olugoye lwa Buganda olw’ennono kuba nakati abantu bakyewuunya engeri Wamala eyayiiya olubugo bweyamanya nti omuti omutuba gusobola okuvaako olubugo.

Awadde Abaganda essuubi nga bwebagenda okuwa Obuganda essanyu olw’ekirabo kya Muzibuazaalampanga kuba buli kimu kyawedde nga byebakola kati byebisembaayo, omulimu bagwanjulire Obuganda.

Ono annyonnyodde nti ekitongole kya Buganda Heritage and Tourism Board kirina omulimu okulaga ebintu bino eri ensi era batandiseewo ekkadiyizo (Museum) okusobola okwongera okutumbula eby’obulambuzi n’okubikulaakulanya era basobole n’okuteekawo ebyafaayo ebituufu ebitali bijingirire.

Owek. Male ategeezezza nti bakola nnyo okulaba nti bakuuma eby’obulambuzi bya Buganda ebiri mu katyabaga nga babiteeka ku mutendera ensi yonna kwebirabira  n’okunyweza obukuumi ku byo era nawera okulwanyisa ababbi b’ettaka abeesomye okumalawo ettaka kwebitudde.

Mu ngeri yeemu, Katikkiro Mayiga agamba nti bakwongera okunyweza ebika kuba nakyo kya bulambuzi era  basuubira ebika okukola enteekateeka y’Eby’obulambuzi abantu basobole okulamaga ku butaka n’okwongera okumanya ebibakwatako.

Ku nsonga y’Empisa ezongera okusaanawo, Owek. Kyewalabye Male ategeezezza nti amaka gaddemu okulera abaana baleme kubalekera masomero, abaana bamanye ebitakolebwa mu Buganda okusobola okutaasa abaana emize gya Sodoma ne Gomola egiri mu masomero.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.