
Bya Ssemakula John
Lubiri – Mmengo
Minisita w’Obuwangwa; Obulambuzi, n’Embiri, Oweek. David Kyewalabye Male, asabye Gavumenti eyawakati okwongera amaanyi mu kusomesa ennimi enzaaliranwa.
Okusaba kuno Owek. Kyewalabye akukoze aggulawo ekivvulu ky’emizannyo ginnansangwa eekiyindidde mu Lubiri e Mmengo ku Lwokutaano.
Owek. Kyewalabye ategeezezza nti kyanguyira abayizi okutegeera ebibeera bisomesebwa singa bibeera mu nnimi ennansi.
Akubirizza amasomero okwongera amaanyi mu mizannyo gino kubanga gitumbula obuyiiya mu baana, gikuuma emibiri gyabwe nga miramu bulungi n’okubawa emikwano.

Okusinziira ku bategesi enteekateeka eno, egendereddwamu okuttukiza emizannyo gino; okumanyisa abato eby’obuwangwa byabwe, n’okuwa omukisa abaana okusisinkana bato bannabwe abalala bongere okumanyagana.
Abayizi okuva mu masomero ag’enjawulo bazannye emizannyo egy’enjawulo omuli okwepena, ssekitulege, vvaawondye, okukuba enje, tambuza eggi, wazzike, okuzinisa enziga, dduulu, okubuuka omugwa, nkusibidde awo, tojja ndya n’okuvuganya mu lulimi Oluganda.
Wabaddewo n’empaka z’olulimi Oluganda eziwanguddwa Abdul-Rahman Maseruka, owa Lubiri Nnaabagereka Primary School era ne basitukira mu sseddume w’ente.









