
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’ Obuwangwa, Ennono, Obulambuzi, Olulimi n’ Ebyokwerinda mu Buganda, Owek. David Kyewalabye Male asabye ebitongole ebiggwa mu minisitule gyatwala okunoonya ensimbi bisobole okuvujirira emirimu gyabyo mu mwaka gw’ebyensimbi omuggya.
Okusaba kuno Owek. Kyewalabye akukoze alabiseeko mu kakiiko k’ebyobuwangwa, ennono, embiri ebyobulambuzi n’ebyokwerinda akakulirwa Owek. Kironde Kisuule ng’ alambulula ku bituukiddwako awamu n’ebigenda okukolebwa mu mwaka gw’ebyensimbi ogwa 2021/2022.
Minisita Kyewalabye abuulidde akakiiko kano nga bwebataddewo enkola ekulaakulanya eby’obulambuzi mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde ogwa 2021/2022 omuli; okuddaabiriza Amasiro, embiri z’Omutanda, Okunyikiza ensonga z’ Ebika, okubbulula empisa y’okwabya ennyimbe, emikolo gy’okwanjula awamu n’enkozesa y’ olulimi Oluganda.
Owek. Male ategeezezza akakiiko kano nti baliko n’ettaka lyebaawa Abataka b’Ebika era kati Minisitule kyeri mu kukola kwekulaba nti ebikolebwako bimatiza kuba bakizudde ng’ettaka ekika kino limaririza litundiddwa abayima nekikosa enkulaakulana.
Ono abuulidde akakiiko kano ng’ ennyumba ya Muzibuazaalampanga esangibwa mu masiro e Kasubi bwegenda okumalirizibwa mu mwezi gw’e 12 omwaka guno era nakakasa nti omulimu ogukoleddwa gwa mutindo ogutuukana n’ekitiibwa kyaayo.

Mu birala ebikoleddwa, Owek. Kyewalabye agamba mulimu okuzimba embiri omuli olwe Nkoni n’endala, okuzimba Bujjabukula, okussa ebibumbe by’ Ebika ku luguudo Kabakanjagala era wano wasabidde ebika ebitanaba kuteekako bibumbe okukikola mu bwangu.
Owek. Kyewalabye akakasizza akakiiko kano ng’ebitundu 70 ku buli 100 ku katala eryaweebwa Minisitule ye bwebikoleddwa era akakasa nti ebitundu 30 ku buli 100 ebibulayo bigenda kukolwako omwaka guno.
Kinajjukirwa nti mu nteekateeka y’okwongera okunnyikiza emirimu nga buyita mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi 2022/ 2023, obukiiko bw’olukiiko obw’enjawulo bwatandika okutunula mu mirimu gya Minisitule ez’enjawulo okwekeneenya ebikoleddwa, ebisuubirwa okukolebwa awamu n’empenda n’ebirowoozo eby’enjawulo ebinaayamba okutuukiriza bino.









