
Bya Ssemakula John
Mutundwe – Busiro
Minisita w’ebyobuwangwa, Ennono n’Olulumi oluganda Owek.David Kyewalabye Male alaajanidde bannayuganda okubaako kyebakola okusobola okukyusa ensi yaabwe nga bayita mukuyamba abo abateesobola mu mbeera ez’enjawulo.
Okwogera bino minisita Kyewalabye era nga ye mumyuka wa Gavana wa ‘Rotary Club’ ye Mutundu abyogeredde ku mukolo bananakibiina kino gwebategese mu Kampala.
Owek. Kyewalabye agamba nti bannayuganda balina okwekola ku bizibu byabwe bakomye okulinda gavumenti okubayamba era beebalina okukulemberamu okulwanyisa obwavu obubamazeeko emirembe.

Ye Gavana wa Rotary mu Uganda ne Tanzania, Ssemwanga Francis agamba nti omwaka guno bagenda kutunuulira nnyo ebyenjigiriza mu Ggwanga kubanga bakizudde waliwo obwetaavu okubitumbula okusobola okuwa abaana b’eggwanga ebiseera by’omu maaso ebiutangaavu.
Pulezidenti wa Rotary Omuggya, David Sserubiri alaze nga bwagenda okutandikira ku nsonga omuli ebyobulamu, ebyenjigiriza n’okuyamba ku gavumenti okuteeka obubonero ku nguudo nga bataasa obubenje.









