Bya Samuel Stuart Jjingo
Kawaala – Kyaddondo
Minisita w’Amawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka Oweek. Israel Kazibwe Kitooke asabye abantu ba Buganda bulijjo okukola n’amaanyi n’okwagala era bafube okwagaliza abalala kuba ku nnono zino Buganda kweyazimbirwa.
Obubaka buno, Minisita Kitooke abuweeredde Kawaala mu Kyaddondo bw’abadde atuuza Omutongole wa Ssaabasajja Kabaka Omulangira Wasajja Eddie Gguluddene awamu n’omumyuka we Mw. Kigoye Bruhan Ssenyomo ku Lwokubiri.
Owek. Kazibwe agamba abantu balina okwewala okusiga obukyayi mu bantu kubanga Kabaka ayanirizza buli omu nga eno yeemu ku ngeri ezisobola okubatwala mu maaso.
Ono era abalabudde ku bantu abavvoola Obuganda nga banoonya ensi okubamanya n’okuganja okubeegendereza kubanga bano beenoonyeza byabwe.
Omumyuka asooka owa Kaggo Ronald Bakulumpagi yeebaziza nnyo Omutongole Mw. Wasajja Gguluddene olw’okusitula abantu abava mu bibiina by’obufuzi byonna era nga ekyo kijja kumuwa omwagaanya okwongera okugatta abantu b’ekyalo kyatwala.
Omutongole omuggya Mw. Wasajja Gguluddene akubye ebirayiro awamu n’Olukiiko lwe nebeyama okuweereza Kabaka nga tebatiriridde era naawayo enkoko ebikumi bibiri zirundibwe ab’okulukiiko bagaziye ensawo y’Olukiiko.
Omukolo guno gwetabidwaako Omumyuka asooka owa Kaggo, Omw. Ronald Bakulumpagi, abaami ba Ssaabasajja Kabaka okuva ku mitendera gyona, bannabyabufuzi okuva mu Gavumenti eyawakati n’oludda oluvuganya awamu n’abatuuze b’ekyalo kino.