Bya Shafic Miiro
Katwe – Kyaddondo
Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki asisinkanye Abaami b’Eggombolola abaggya naabasaba okuweereza Beene n’obumalirivu.
Obubaka buno Owek. Kawuki abuweeredde mu nsisinkano gy’abaddemu nabo ku Muganzirwazza e Katwe mu Kyaddondo ku Lwokubiri okubalambika ku nkola y’emirimu.
“Mwekebere nga tebannabakebera, tujjukira Kabaka bweyali aggulawo olukiiko omwaka oguwedde, yagamba abantu okwekenenya obuweereza bw’Abaami,” – Minisita Kawuki bwatyo bw’annyonnyodde.
Owek. Kawuki abasabye okuweereza Kabaka n’obumalirivu olwo basobole okwanganga ebisoomooza abantu mu bitundu bye bakulembera.
Bano era abakuutidde okwagala Kabaka bakuggye mu bigambo wabula kibeere mu bikolwa kubanga Ssaabasajja abaagala kuweereza bantu be nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.
Minisita era akuutidde Abaami okubanja Federo ng’obubaka babutandikiza ddala ku bakiise mu Paalamenti abava mu bitundu byabwe, kyokka abajjukiza n’obutava ku Federo ey’ebikolwa.
Abaami abaggya beeyamye okubeera abawulize era bakole buli kisoboka okulwanirira Nnamulondo n’okukuuma ekitiibwa kya Buganda.
Bano era bakwasiddwa amabaluwa agabakakasa ku buweereza nebaweebwa n’amagezi ku ngeri gyebasobola okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ab’eggombolola era baweereddwa omusomo ku bya Yinsuwa ogukulembewamu Omuk. Jennifer Ssensuwa, Ssenkulu wa Weerinde Insurance ey’Obwakabaka.
Kinajjukirwa nti nga 15/04/2024, Omutanda yasiima nawummuza abamu ku Baami be era nabaako basiima okuwa obuvunaanyizibwa ate abalala naabalinyisa amadaala.