• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Kawuki asisinkanye Abaami b’Eggombolola, Abaggya, abakuutidde ku bumalirivu n’obuvumu  nga baweereza Nnyinimu

Gambuuze by Gambuuze
April 23, 2024
in Agafa e Mengo
0 0
0
Owek. Kawuki asisinkanye Abaami b’Eggombolola, Abaggya, abakuutidde ku bumalirivu n’obuvumu  nga baweereza Nnyinimu
0
SHARES
105
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Shafic Miiro

Katwe – Kyaddondo

Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Kabaka n’Ensonga za Buganda Ebweru, Owek. Joseph Kawuki  asisinkanye Abaami b’Eggombolola abaggya naabasaba okuweereza Beene n’obumalirivu.

Obubaka  buno Owek. Kawuki abuweeredde mu nsisinkano gy’abaddemu nabo ku Muganzirwazza e Katwe mu Kyaddondo ku Lwokubiri okubalambika ku nkola y’emirimu.

“Mwekebere nga tebannabakebera, tujjukira Kabaka bweyali aggulawo olukiiko omwaka oguwedde, yagamba abantu okwekenenya obuweereza bw’Abaami,” – Minisita Kawuki bwatyo bw’annyonnyodde.

 Owek. Kawuki abasabye okuweereza Kabaka n’obumalirivu olwo basobole okwanganga ebisoomooza abantu mu bitundu bye bakulembera.

Bano era abakuutidde  okwagala Kabaka bakuggye mu bigambo wabula kibeere mu bikolwa kubanga Ssaabasajja abaagala kuweereza bantu be nga batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe.

Minisita era akuutidde Abaami okubanja Federo ng’obubaka babutandikiza ddala ku bakiise mu Paalamenti abava mu bitundu byabwe, kyokka abajjukiza n’obutava ku Federo ey’ebikolwa.

Abaami  abaggya beeyamye okubeera abawulize era bakole buli kisoboka okulwanirira Nnamulondo n’okukuuma ekitiibwa kya Buganda.

Bano era bakwasiddwa amabaluwa agabakakasa ku buweereza nebaweebwa n’amagezi ku ngeri gyebasobola okutuukirizaamu obuvunaanyizibwa bwabwe.

 Ab’eggombolola era baweereddwa omusomo ku bya Yinsuwa ogukulembewamu Omuk. Jennifer Ssensuwa, Ssenkulu wa Weerinde Insurance ey’Obwakabaka.

Kinajjukirwa nti nga 15/04/2024, Omutanda yasiima nawummuza abamu ku Baami be era nabaako basiima okuwa obuvunaanyizibwa ate abalala naabalinyisa amadaala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist