Bya Ssemakula John
Mpigi – Mawokota
Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki asabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka mu ssaza Mawokota okukomya okutiiririra Kabaka kuba kuno kuba kulemererwa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe.
Okwogera bino abadde ku mbuga y’essaza Mawokota e Butooro mu musomo ogwategekeddwa okusomesa abaami ba Kabaka ku nzirukanya y’emirimu.
“Omuntu yenna gwe baagala ennyo bwayiwa abantu bamukyawa nnyo n’okusinga gwe batayagala. Awo nno bassebo ne bannyabo, nze ndaba nga mwenna abalondeddwa mwasanyudde abantu naye essanyu munaalikuuma mutya okuggyako okussa mu nkola ekiragiro kye mukubye.” Minisita Kawuki.
Owek. Kawuki bano abalabudde nti baakusanga okusoomoozebwa mu bukulembeze bwabwe ng’abantu bangi baakubeetamwa n’okubakyawa singa balemwa okutuukiriza emirimu egibatumiddwa Ssaabasajja Kabaka.
Minisita Kawuki abasabye okukomya okwetuumako emirimu gy’Obwakabaka nga batya okugabana obuyinza n’abantu abalina obusobozi mu bintu eby’enjawulo, olw’okutya okusingibwa n’abasanga okukulembeza Buganda mu buli nsonga yonna.
Bano Minisita bamulambuzza embuga y’essaza n’emirimu egikolebwa ku mbuga eno okuli ensuku n’emmwanyi. Abasabye okwogera amaanyi mu kulima babalabireko nga y’emu ku ngeri gye basobola okulikuuma.
Omwami w’essaza Mawokota, Kayima Gabriel Kabonge alambululidde Minisita emirimu egikolebwa abantu mu ssaza Mawokota n’ebimu ku bibatuusizza ku buwanguzi.
Abaami b’amagombolola abeetabye mu musomo guno balaze ebimu ku ebyo ebibadde bibasoomooza ne bategeeza nti omusomo guno gubagasizza nnyo era baakuddayo emirimu gya Beene bagikozese bukugu; okuzza Buganda ku ntikko
Oluvannyuma lw’omusomo guno, bano baweereddwa eggaali zibayambeko mu ntambuza y’emirimu gyabwe.