• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Owek. Kawuki asabye abaami obutatiiririra Kabaka

Gambuuze by Gambuuze
December 7, 2021
in Amawulire
0 0
0
Owek. Kawuki asabye abaami obutatiiririra Kabaka
0
SHARES
67
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Mpigi – Mawokota

Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki asabye abaami ba Ssaabasajja Kabaka mu ssaza Mawokota okukomya okutiiririra Kabaka kuba kuno kuba kulemererwa kutuukiriza buvunaanyizibwa bwabwe.

Okwogera bino abadde ku mbuga y’essaza Mawokota e Butooro mu musomo ogwategekeddwa okusomesa abaami ba Kabaka ku nzirukanya y’emirimu.

“Omuntu yenna gwe baagala ennyo bwayiwa abantu bamukyawa nnyo n’okusinga gwe batayagala. Awo nno bassebo ne bannyabo, nze ndaba nga mwenna abalondeddwa mwasanyudde abantu naye essanyu munaalikuuma mutya okuggyako okussa mu nkola ekiragiro kye mukubye.” Minisita Kawuki.

Owek. Kawuki bano abalabudde nti baakusanga okusoomoozebwa mu bukulembeze bwabwe  ng’abantu bangi baakubeetamwa n’okubakyawa singa balemwa okutuukiriza emirimu egibatumiddwa Ssaabasajja Kabaka.

Minisita Kawuki abasabye okukomya okwetuumako emirimu gy’Obwakabaka nga batya okugabana obuyinza n’abantu abalina obusobozi mu bintu eby’enjawulo, olw’okutya okusingibwa  n’abasanga okukulembeza Buganda mu buli nsonga yonna.

Bano Minisita bamulambuzza  embuga y’essaza n’emirimu egikolebwa ku mbuga eno okuli ensuku n’emmwanyi. Abasabye okwogera amaanyi mu kulima babalabireko nga y’emu ku ngeri gye basobola okulikuuma.

Omwami w’essaza Mawokota, Kayima  Gabriel Kabonge alambululidde Minisita emirimu egikolebwa abantu mu ssaza Mawokota n’ebimu ku bibatuusizza ku buwanguzi.

Abaami b’amagombolola  abeetabye mu musomo guno balaze ebimu ku ebyo ebibadde bibasoomooza ne bategeeza nti omusomo guno gubagasizza nnyo era baakuddayo emirimu gya Beene bagikozese bukugu; okuzza Buganda ku ntikko

Oluvannyuma lw’omusomo guno, bano baweereddwa eggaali zibayambeko mu ntambuza y’emirimu gyabwe.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist