Bya Stephen Kulubasi
Mbale
Minisita avunanyizibwa ku Gavumenti ez’ebitundu wamu n’entambula za Kabaka, Owek. Joseph Kawuki, akubirizza abantu ba Ssaabasajja Kabaka okwegatta batandikewo emirimu olwo bagyenyigiremu basobole okwekulaakulanya.
“Musobola okutandikawo Pulojekiti ez’enjawulo mwe musobola okuteeka ensimbi. Ne bwemuba mutandise ne Pulojekiti eya Hotel kisobola okutuyamba ne tukolaganira wamu.” Owek. Kawuki bw’agambye.
Obubaka buno abubaweeredde mu musomo ogwategekeddwa Obwakabaka okubangula wamu n’okusomesa Abaami ba Kabaka abaggya mu ssaza lino erigatta ekitundu kya Bugisu, Teso ne Sebei ku Lwokubiri ogwayindidde mu kibuga Mbale. Minisita Kawuki bano era abasabye okulondoola enteekateeka z’enkulaakulana eziteekebwawo Obwakabaka okulaba nga nabo baziganyulwamu.
Omwami atwala essaza lino, Owek. Rashid Nsubuga, asabye bakulembeze banne okunyweza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa era batambulire ku nsonga ssemasonga ettaano ez’okuzza Buganda ku ntikko. Bano baloopedde Owek. Kawuki ebisoomoozo omuli; obwavu mu bantu ba Kabaka, ebyenjigiriza ebitali ku mutindo n’ebirala era ne basaba gavumenti y’Omutanda ebakwatizeeko.
Abaami bano babanguddwa Owek. Luis Lubega n’Omukungu Peter Zaake, Abaami abaggya baakulayizibwa mu Gwokusatu omwaka guno batandike emirimu gyabwe. Kinajjukirwa nti Ssaabasajja Kabaka yasiima n’afuna amasaza ag’enjawulo wabweru w’ensalo za Buganda era n’agalondera n’Abaami okusobola okugatta abantu be.