Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita w’obuyiiya n’enzirukanya y’emirimu, Owek. Prof. Twaha Kigongo Kaawaase, asabye gavumenti erowooze ku ky’okuwa ebitundu ebyenjawulo enfuga eya Federo emirimu gisobole okutambula n’eggwanga okukulaakulana.
Okusaba kuno Owek. Kaawaase yakukoledde mu bimuli bya Bulange ku Ssande bwe yabadde aggalawo enteekateeka y’okwegemesa ekirwadde kya Corona ey’ekikungo nga yategekeddwa Obwakabaka ne kkampuni ya Uganda Breweries Ltd awamu ne bannamikago abalala.
“Obukulembeze obw’ennono nga Buganda nayo kweri twettanira nnyo enkola eya Federo era tujagaliza buli kitundu kyonna ekya Uganda. Era singa tulina entambuza ku nfuga eya Federo ensonga nnyingi nga n’eno gye tuliko ey’ebyobulamu kweri zandibadde zitambula bulungi nnyo okusinga bwe zitambula.” Owek. Kaawaase bw’alambuludde.
Okusinziira ku Owek. Kaawaase, abakulembeze b’ennono bali ku mwanjo nnyo nga baliraanye abantu baabwe ate nga waliwo n’obwesigwa nga bwekiri ku Ssaabasajja Kabaka. Ono yasiimye abaminisitule y’ebyobulamu olw’okutambula obulungi ne Buganda.
Owek. Kaawaase agamba nti yeewuunya abantu abakyagaanye okuvaayo okubagema kuba kino kiteeka obulamu bwabwe mu matigga n’abasaba okusitukiramu.
Ate ye Kamisona mu Minisitule y’ebyobulamu, Owek. Richard Kabanda yategeezezza nti kino kigenda kukolebwa ne mu bitundu ebirala okuli Teso n’awalala era n’asaba Beene asiimye enteekateeka eno etwalibwe mu masaza ga Buganda gonna.
Ye omukungu wa Uganda Breweries, Jackie Tuhakanizibwe, yagambye nti kyabawadde essanyu nti abantu bazze mu bungi era n’asiima Nnyinimu