• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Agafa e Mengo

Owek. Kaawaase alabudde abaagala okumalawo ettaka lya Buganda

Gambuuze by Gambuuze
April 5, 2022
in Agafa e Mengo, Ebyenjigiriza
0 0
0
Owek. Kaawaase alabudde abaagala okumalawo ettaka lya Buganda
0
SHARES
68
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Ssemakula John

Kazo – Kyaddondo

Omumyuka wa Katikkiro asooka Prof. Twaha Kaawaase Kigongo atabukidde bannakigwanyizi abeesomye okumalawo ettaka lya Buganda nabasaba okweddako kuba nebwebanakola ki Buganda lwazzi nga weeri, yakubaawo nabanajja bajja kulisangawo.

Bino Kaawaase abyogeredde Kazo Nabweru mu Wakiso ku mukolo bannamikago okuli IREAD ne Rotary kwebakwasiriza Obwakabaka essomero omugenda okusomera abaana abato ab’emyaka 0-5 okusobola okutumbula ebyenjigiriza mu Buganda.

” Tukyogera lwattu nti Buganda lwazzi terina gyeraga n’ettaka bagezaako bugeza okulibba, okuggyako nga balitutte ku mwezi naye lijja kusigala wano era nebwebuliba ddi, atutte ettaka ly’Obwakabaka mu makwettu lijja kutuddira, ” Owek. Kaawaase bw’annyonnyodde.

Owek. Kaaawaase abaagala okukozesa ettakab lya Buganda abawadde amagezi bakozese amakubo amatuufu agaateekebwawo Ssaabasajja Kabaka  era nategeeza abantu mukitundu kino nti ettaka lyawo  Beene yaliwaayo okutumbula ebyenjigiriza.

Owek. Kigongo agamba nti ekifo awazimbidwa essomero lino okuva nga akyali Minisita w’ ebyenjigiriza e Mmengo waliwo abantu ababadde bagezaako okulibba okulemesa enteekateeka y’okuteekako amasomero ag’enjawulo.

Ate Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza n’embeera z’abantu mu Buganda, Owek. Dr. Prosperous Nankindu Kavuma ategeezezza nti kyasanyu okulaba nti omulimu guno ogwatandike n’okussa omukono ku ndagaano nga guwedde mu myezi esatu zokka.

Ye Gavana wa Rotary mukitundu kino John Magezi Ndamira agamba nti baagala okuyambako okuzimba obwongo bw’ abaana bano basobole okusoma obulungi ku mutendera gwa Pulayimale era nasiima Ssaabasajja Kabaka olw’enkolagana ennungi gyeyateekawo.

Ssentebe we Kyalo Kino Kiyimba Nathan aweze nga bwebagenda okukuuma ebintu bino era nakolokota  bannabyabufuzi abazingamya enkulaakulana nga ezze mukitundu kyabwe.

Essomero lino Minisita Owek. Nankindu Kavuma yalikwasiza omumyuka asooka owa Katikkiro abadde akiikiridde Kamalabyonna ku mukolo guno.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist