
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Abadde Minisita wa gavumenti ez’ebitundu, Owek. Christopher Bwanika awaddeyo woofiisi eri amudidde mu bigere, Owek. Joseph Kawuki namusuubiza okumuyambako wanaaba wetaaze obuyambi.
Omukolo guno guyindidde mu Bulange e Mmengo ku Lwokuna nga gwetabiddwako abakungu ba Buganda ab’enjawulo.
Owek. Bwanika amuyozayozezza olwa Ssabasajja Kabaka okumulengera namusuumuusa ku ddaala okuva ku minisita omubeezi namufuula minisita omujjuvu.
Owek Bwanika annyonnyodde byebasobodde okutuukako nga mwemuli okwongera okunyikiza obuweereza bulungi nga mukyo bagaziyiza woofiisi eno era buli lukiiko lw’essaza waliyo bannamateeka era nga bakolagana buteereevu ne wofiisi ya Sabawolereza era nga baasobola nokuzzaawo ebitaawuluzi.
Ono era yeyamye okusigala nga bakwasiza wamu emirimu mu woofiisi eno kubanga byonna byetoololera mu Minisitule ye.
Ye Minisita Joseph Kawuki yeebazizza owek Mpanga okumulera okumutuusa lwatuuse ku kkula lino era neyebaza ne Owek . Christopher Bwanika olwenkolagana enungi gyebalina namusaba obutamulekerera.
Kawuki era asabye enkola yokuzimba bannamateeka mu masaza eyongerwemu amaanyi abantu basobole okufuna obuwereza obulungi .
Kinajjukirwa nti mu nkyukakyuka empya Beene yasiima natondawo Minisitule ya Gavumenti ez’Ebitundu, Okulambula kwa Ssaabasajja Kabaka n’Ensonga z’Abantu b’Ebweru era nagikwasa Owek. Joseph Kawuki ate Owek.Chrsitopher Bwanika nasigala nga ye Ssaabawolereza.









