
Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Minisita w’ensonga z’Amateeka era Ssaabawolereza wa Buganda, Owek. Christopher Bwanika asabye abakulembeze abavunaanyizibwa ku kuteekerateekera ebibuga okukola n’obukugu ate baleme kunyigiriza bantu ababiwangaaliramu.
Okusaba kuno Minisita Bwanika akukoledde mu Bulange e Mmengo ku Lwokubiri bw’abadde atikkula Oluwalo okuva mu bammeeya n’ekitongole ki Ssuubiryo Zambogo SACCO.
Owek. Bwanika asomoozezza bammeeya bulijjo okuteekerateekera ebibuga mu ngeri egasa bannansi era etanyigiriza bantu wadde nga enkulaakulana yeetaagibwa.
Minisita Bwanika era asabye abakulembeze bulijjo obuweereza bwabwe okubutambuliza ku mazima nobwerufu kibasobozese okugussa obuvunannyizibwa bwabwe olwo Buganda esobole okudda ku ntikko.
Ssaabawolereza era asabye abakulembeze bulijjo obuweereza bwabwe okubutambuliza ku mazima nobwerufu kibasobozese okugussa obuvunaanyizibwa bwabwe.
Ye minisita w’Amawulire n’Okukunga abantu ba Kabaka, Owek. Israel Kazibwe awadde bannayuganda amagezi okwettanira obwegassi kuba lwelutindo olwokubayunga ku nkulaakulakulana eyanamaddala.
Mmeeya wa Masaka City, Florence Namayanja yeebaziza Omutanda olw’okuvaayo nalagira Masaka efuulibwe City ekyakolebwa kyagamba nti kyo gedde enkulaakulana eyamanyi mu bitundu bino .
Ate Ssentebe wa Bboodi ya Ssuubiryo Zambogo SACCO Owek. Balikuddembe Ssenkusu, ategeezezZa nti nti enkola Y’ Oluwalo yankizo nnyo mu kusitula Obwakabaka nga kyansonga buli omu okugyetabamu .
Mu luwalo luno obukadde 16 n’emitwalo 76 zezireteddwa bammeeya b’ebibuga eby’enjawulo kwossa ekitavvu ekya Suubiryozambogo SACCO.
Ekibuga ky’e Masaka kyekinywedde mu birala akendo bwe bazze n’obukadde 10 n’emitwalo 26, Kakiri Town Council akadde Kamu, Kyengera Town Council emitwalo 50, Kajjansi town Council akakadde kamu nga ate ekitongole Ki Ssuubiryo Zambogo SACCO kikiise nobukadde 4.









