Bya Ssemakula John
Bulange – Mmengo
Ssaabawolereza wa Buganda era minisita wa gavumenti ezebitundu Owek. Christopher Bwanika akalaatidde abantu ba Kabaka okwongera okwenyigira n’okuwagira enteekateeka z’obwakabaka nga erimu ku makubo g’okuzza Buganda ku ntikko.
Bino abyogeredde mu kutikkula Oluwalo lwa bukadde obusobye mu 13 okuva mu banna Ssingo ku Lwokubiri mu Bulange e Mmengo.
Owek. Bwanika abantu ba Kabaka abasabye okwegattira mu bibiina eby’enjawulo ebitandikiddwawo Obwakabaka kibayambe okwekulaakulanya beegobeko obwavu.
Abakuutidde okwongera okunyweza obumu mu buli kyebakola kuba lye kkubo erigenda okubatwala mu maaso n’okuzza Buganda ku ntikko.

Ye Minisita omubeezi owa gavumenti z’ebitundu Owek. Joseph Kawuki awadde abantu ba Kabaka amagezi okuba abamalirivu nokwesigama ku bumu okusobola okukuuma ettaka erisulirira okutwalibwa bannakigwanyizi.
Abaami abakulembeddemu abantu bano nga bakuliddwa Ssentebe wa disitulikiti ye Kiboga, Ssaalongo Nsiirwe Gerald Wavamunno, bategeezezza minisita Bwanika nga ekibattaka bwekibasuza nga tebeebase mu bintu byabwe so nga n’abantu b’Omutanda obwavu bubasuza ku tebuukye.
Eggombolola ezikiise embuga kuliko; Mutuba 6 Lwamata , Mutuba 11 Kibiga, Ssaabawali Kapeke ne Mutuba 13 Muwanga.









