
Bya Samuel Stuart Jjingo
Bulange – Mmengo
Ssaabawolereza wa Buganda, Owek.Christopher Bwanika asabye bannamateeka mu ggwanga okwewala ensimbi ezamangu nga bakola omulimu gwabwe ,wabula essira abaliteka ku buweereza obulumirirwa abantu okufuna basobole okufuna obwenkanya.
Obubaka buno Owek. Bwanika abuweeredde mu Bulange e Mmengo ku Lwokusatu bw’abadde asisinkanye ekimu ku bibiina ekigatta bannamateeka ki Uganda Young Lawyers Network abakulembeddwamu Tonny Tumukunde .
Owek.Christopher Bwanika bano abategeezezza nti Kabaka omulembe gwe yagukwasa bavubuka nabasaba okukola ennyo era wano asuubizza ng’Obwakabaka bwebujja okukola endagaano entongole n’ekibiina kino.

Ono annyonnyodde nti abantu abawerako mu ggwanga lino beetaaga obuweereza bwa bannamateeka naye ate tebalina ssente bwatyo naabasaba olumu bakole obwanakyewa okuyambako abeetaavu okulaba nti bafuna obwenkanya.
Eyakulembeddemu abavubuka bano era Pulezidenti w’ekibiina kino, Tonny Tumukunde ategeezezza nti ensisinkana eno ebawadde essuubi ku mulimu gwebalina okukola basobole okutumbula obwenkanya n’okuweereza Obwakabaka.

Tumukunde ayitiddemu Ssaabawolereza ku bimu ku bibasomooza mu mulimu gwabwe n’ensonga lwaki basalawo okutandika ekibiina kino.
Bano bagamba nti betegefu okuwereza obwakabaka nga bayita mu mateeka ku bwerere bayambe abantu ba Buganda okufuna obwenkanya.









