• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Ebyobusubuuzi

Oweek. Nsibirwa atongozza Boodi empya eya Namulondo Investments Limited

Gambuuze by Gambuuze
August 18, 2020
in Ebyobusubuuzi
0 0
0
Oweek. Nsibirwa atongozza Boodi empya eya Namulondo Investments Limited
0
SHARES
31
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Gerald Mulindwa

Mmengo

Omumyuka Ow’okubiri owa Katikkiro Owek Robert Waggwa Nsibirwa ayanjudde boodi empya eya kkampuni ya  Namulondo Investments Limited leero ku Lwokubiri e Bulange – Mmengo.

Boodi eno egenda kukulirwa  Omuk. Fredrick Mutebi Kitaka  nategeeza nga eyali Ssentebe Dr. Robin Kibuuka bweyasaba Beene okumukkiriza okugenda emitala w’amayanja okubaako byamaliriza.

Oweek. Nsibirwa ne Boodi empya eya Namulonda

“Omukulu ono y’oomu ku batandika kkampuni ya Qualitiy Chemicals e Katwe eyatundanga eddagala ly’ebirime n’ebisolo ate era y’omu ku batandisi ba Cipla Quality Chemical Industries Limited gyemumanyi obulungi ekola eddagala lya Mukenenya n’omusujja gw’ensiri,” Nsibirwa bwanyonyodde

Nsibirwa yalaze nga bwebasuubira Namulondo okubaako wetuuka olw’ obukugu bwa Ssentebe Mutebi .

Omukungu Mutebi agenda kumyukibwa Dr. Ian Ssenkatuuka nga ono mukugu mu kukuba pulaani n’okuteekerateekera ebibuga ate nga mukiseera kyekimu musomesa ku Ssettendero wa Makerere.

Abalala abatuula ku boodi eno ye;  Omutaka Kibondwe, Omukungu Ssebuufu, Omuk. Lilian Nankulu wa Namulondo Investments Limited, Oweek. Mutaasa Kafeero, Omuk. John Baptist Kitenda n’ Omuky. Lubwama.

Oweek. Nsibirwa ategeezezza nga Obwakabaka bwebweyama okuzimba ebizimbe 2 ebinene buli mwaka era nga omwaka guno bazimbye ekizimbe Ndiwulira ku ggombolola e Makindye  wamu n’ekirala ku Ssaza e Kasangati.

Mu kwogera kwe, Ssentebe Omuggya Fredrick Mutebi Kitaka, yeebazizza Ssaabasajja Kabaka ne Katikkiro olw’okumulengera naweebwa obuvunanyizibwa buno.

Omuk. Mutebi yeeyamye okukola obuvunaanyizibwa buno n’amaanyi ge gonna era nasuubizza okwongerayo kkampuni ya Namulondo.

Kinajjukirwa nti, Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka asiima nalonda abanakulira boodi eno nabawa ekisanja kya myaka esatu, Beene asobola okusiima nayongera gwalonze ekisanja wadde tasussa myaka 6 nga awereza.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist