Bya Shafik Miiro
Bulange – Kyaddondo
Minisita w’Abavubuka, Ebyemizannyo n’ Ebitone, Owek. Robert Sserwanga asabye abavubuka okukozesa obulungi emikisa gyebafuna kibayambe okugaziya okumanya kwabwe basobole okukyuusa obulamu.
Okusaba kuno, Owek. Sserwanga akukoledde Bulange e Mmengo ku Lwokuna nga asisinkanye bannankobazambogo abafunye omukisa okukolera mu kampuni ya Airtel ne K2 Telcom.
Owek. Sserwanga abavubuka abafunye omukisa guno abasabye okubeera abeesigwa, abeerufu n’obutapapira nnyo kufuna bugagga wabula okukola emikwano egy’ensonga egyo egirina kye gibagattako olwo ne bye bakola babikozese bumalirivu okusobola okuwangula ensi eno.
Bano babanguddwa ku ngeri gye bagenda okutambuzaamu omulimu guno era ng’esiira litereddwa ku bayizi abali mu matendekero ne zi ssetendekero era enteekateeka eno etuumiddwa “University Champion program”
Era kitegeerekese nti abavubuka bano bagenda kuba bakunga n’okumanyisa bavubuka bannaabwe empeereza za kkampuni zino ez’enjawulo.
Okusomesa kukulembeddwamu akulira bakitunzi mu kkampuni ya Airtel Omw. Ali Balunywa n’Omuky. Faridah Mbabaali, Ssenkulu wa K2 Telcom Omuk. Arthur Mawanda n’Omukwanaganya w’Abavubuka mu Buganda Owek. Hassan Kiyemba.