Bya Shafik Miiro
Bulange – Mmengo
Obwakabaka buzizza buggya omukago gwabwo ne kkampuni ya Airtel Uganda nga enkolagana eno eyongeddwayo emyaka emirala esatu.
Mu mukago guno Airtel ejja kuwagira emikolo gy’Obwakabaka egy’enjawulo okuli; empaka z’Amasaza, okusiibulula abasiraamu, emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka, Emipiira gy’Ebika by’Abaganda, n’emirala.
Bw’abadde ajulira omukago guno, Katikkiro Charles Peter Mayiga agambye nti mu Buganda we wasinga okubeera akatale ka buli kyattunzi mu Uganda.
Owek. Mayiga agasseeko nti Obwakabaka bukakasa nti omukago guno gwa kuyamba enjuyi zombi kubanga Buganda lwe lutindo olukutuusa ku baguzi ate Airtel bwekola amagoba nebagakozesa okuwagira emirimu egikwata ku bulamu bw’omuntu owa bulijjo olwo akatale kabeera kabaganyula.
Ow’Omumbuga annyonnyodde nti ennono nobuwangwa biwagirwa bya nfuna, obwakabaka kyebuva bukolagana ne bannamukago okuwagira emirimu gy’Obwakabaka, era ayagala omukago gukule ne Airtel ekule.
Ategeezezza nti walina okubaawo obwesigwa mu mukago guno okusobola okuwangaala, awonno akubirizza ebitongole by’Obwakabaka okwesiga airtel emirimo giryoke ginnyikire bulungi.
Omumyuka owookubiri owa Katikkiro, Omuwanika w’Obwakabaka era Minisita wokuteekerateekera Obwakabaka, Oweek Robert Waggwa Nsibirwa, ategeezezza nti ku mulundi guno batunuulidde nnyo abavubuka okulaba nga babayingiza mu nteekateeka z’obwakabaka yadde abamu babalaba nga ekizibu naye obwakabaka bwagala basoosowazibwe.
Ye Ssenkulu wa Airtel Soumendra Sahu, ategeezezza nti edda Engoma yeyakozesebwanga nga eddoboozi lya Buganda okutuusa obubaka ku bantu era n’ebyennono byaffe byayitiranga omwo, n’olwekyo nga Airtel balowooza nti omukago gwa K2 y’Engoma empya enaakozesebwa okutuusa obubaka ku bantu ba Kabaka.
Ku lwa Ssentebe wa Bboodi ya K2, Omuk. Micheal Kawooya Mwebe, agambye nti enkolagana ya Airtel n’obwakabaka eyambye nnyo okusitula omutindo gwebyempuliziganya mu Uganda.
Enkokagana ya Airtel n’obwakabaka esemberedde emyaka 13.