Bya Ronald Mukasa
Bulange – Mmengo
Kamalabyonna Charles Peter Mayiga atabukidde ebitongole bya Gavumenti eyawakati ebikolera mu bizimbe by’Obwakabaka kyokka nebigaana okusasula ensimbi z’obupangisa.
Okwogera bino, Kamalabyonna abadde atongoza Bboodi empya eya Namulondo Investments Ltd ekulemberwa Mw. Fredrick Mutebi Kitaka.
Owek. Mayiga agamba nti nga ojjeeko ekitongole ky’essiga eddamuzi, ebitongole okuli, eky’amakomera, Poliisi, ebitebe bya Disitulikiti, n’ebirala bikyeeremye okusasula Obwakabaka ensimbi z’obupangisa ekintu ekireetedde Obwakabaka okufiirizibwa n’okuzingamya entambula y’emirimu.
Katikkiro Mayiga asabye Bboodi empya eronde obukulembeze obunaasobola okuddukanya emirimu gy’ekitongole kino nga bukozesa obuyiiya nobumanyirivu.
Bano era abasabye okukola pulaani ey’okulabirira ebizimbe by’obwakabaka bisobole okuggyayo ekifaananyi ekirungi eky’obwakabaka.
Ye Minisita w’Ettaka n’ebizimbe, Owek David Mpanga, ategeezezza nti banoonyezza Bboodi ey’omulembe guno eragira ddala obumanyirivu mu ntambuza y’ebizimbe, enkulaakulana yabyo era abalinamu obwesige.
Bboodi erondeddwa ekulirwa Ssentebe Mw. Fredrick Mutebi Kitaka, Amyukibwa Dr. Ian Ssenkatuuka, bammemba kuliko; Dr. Mark Kayongo , Omuk. John Kitenda, Mw. Joseph Yiga ne Muky. Candy Namayanja Mpanga.
Bammemba abalala kuliko; Mw. Dan Kasirye, Muky. Sarah Kironde Ssemanda Musoke, Muky. Gloria Evelyn Nalumansi Byamugisha n’Omutaka Kasujja Shebah Kakande.
Ssentebe wa Bboodi Mw. Fredrick Mutebi Kitaka yeeyamye kulwa banne okutuukiriza obuvunaanyizibwa obubaweereddwa Obuganda busobole okudda ku ntikko.