![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/02/WhatsApp-Image-2020-02-21-at-7.59.35-PM-1-1024x683.jpeg)
Musasi waffe
Minisita w’Obuwangwa, Embiri n’Obulambuzi Oweek. Kyewalabye-Male olwaleero okyaliddeko omukulembeze w’Abanyala Namuyonjo, Yuda Kayemba ku mbuga ye esangibwa ku kyalo Wabunyonyi mu Kayunga naasubiza nti Obwakabaka bwetegefu okukolagana naye okuzimba embuga eno okugiteeka ku mutindo oguweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Kyewalabye ategeezezza nti Namuyonjo wa nkizo nyo mu ssaza ly’e Bugerere kubanga y’ayunga Abanyala ku bukelembeze bw’Obwakabaka.
N’olwekyo okukyalira Namuyonjo ebadde emu ku nteekateeka z’Obwakabaka okumutongoza mu kifo kino oluvannyuma lwa Ssaabasajja okumusisinkana gyebuvuddeko n’alagira bagoberere emitendera n’amateeka okulaba ng’atuuzibwa ku lubiri lwe a Wabunyonyi.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2020/02/WhatsApp-Image-2020-02-21-at-7.59.35-PM-1024x683.jpeg)
E Kayunga Kyewalabye ayaniriziddwa omwami w’essaza Mugerere wamu ne Katikkiro wa Namuyonjo Ssenkungu Charles Walugendo n’omumuka we Dr Yahaya Ssebunnya n’abakulembeze abalala ku mitendera egy’ejawulo.
Bano basookedde ku mbuga y’eSsaza e Kayunga.
Oluvannnyuma bagenze ku Mbuga ya Namuyonjo e Wabunyonyi era eno minisita gye bamulagidde Amasiro g’aba Namuyonjo abazze babeerawo okuli Kayemba ne Murasa.
Katikkiro wa Namuyonjo annyonnyodde nti ba Nnamuyonjo baava ku mutala Bbanda ne Basenga e Wabunyonyi naye nga ensibuko yaabwe y’e Bunyoro nga mu Buganda bayingizibwamu oluvanyuma lw’omulangira Namuyonjo okuwanganguka okuva e Bunyoro n’asenga mu Bugerere e Kibulala ku mulembe gwa Ssekabaka Mawanda.
Ono yeetonze ku lw’Abanyala abalala abazze baleetawo embeera ey’obunkenke n’ategeeza nti beetegefu okugondera n’okugobererra entegeka z’Obwakabaka zonna.
Namuyonjo naye ategeezezza nti ekifo kino ekiweza yiika nnya baagala bakikulakulanye nga bazimbako olubiri n’okulubugiriza.
Yeebazizza Ssaabasajja okuweereza omubaka era n’asuubiza nti bagenda kukolera wamu okukulakulanya Obuganda.
Kyewalabye abasabye bafune ebiwandiiko ebikwata ku ttaka lino era n’asuubiza okubakwasizaako ku nsonga eno naddala ssinga kiba kyetaagisa okwerula empenda.
Ayongedde okukkaatiriza nti Namuyonjo abeera mukulembeze wa nnono era nga wa nsikirano n’agamba nti oyo yekka agwa mu lubu lwa ba Nnamuyonjo yayinza okufuuka omukulembeze W’abanyala.
Bwe bavudde ku mbuga ya Namuyonjo boolekedde amaka ga Katikkiro e Nnongo ne bongera okwegeyaamu oluvannyuma ne baabuka.