Musasi waffe
Omumyuka wa Katikkiro asooka era nga yavunaanyizibwa ku mirimu n’obuyiiya mu Bwakabaka, Oweek. Pulofeesa Twaha Kigongo Kaawaase, asiimye nnyo ab’ekitongole kya Salam Charity Organization olw’okukola emirimu egigasa abantu.
Bwabadde ayogerera ku Bulange e Mmengo oluvannyuma lw’okukwasibwa Kulaane y’Oluganda okusiima emirimu gyakoledde ekitongole kino, wamu n’Obwakabaka gyebukoledde eddiini y’Obuyisiraamu, Oweek. Kaawaase agambye nti Obwakabaka tebusosola mu ddiini yadde amawanga.
“Embuga eno eyaniriza buli muntu…Twettanira okulaba nga tujja abantu mu bwavu, tubatumbula mu byenjigiriza ate n’ebyobulamu. Salam Charity ezimba amasomero, amasinzizo, mudduukirira abali mu bwetaavu olo musimbye mu ssemasonga y’okutumbula embeera z’abantu,” Kaawaase bweyagambye.
Kululwe, Khalisa Karim, akulira Salam Charity Organization yeebazizza nnyo Oweek. Kaawaase olw’obuwabuzi bwabawa.
“Tukwenyumirizaamu nnyo era twanoonyezza engeri y’okulaga okwebaza kwaffe netulaba ng’omusingi gwa kulaane gusibuka wano. Ebadde ewandiikibwa mu Luwalabi naye kati eri mu Luganda twagala abantu baffe okugisoma era bagitegeere,” Khalisa bweyategeezezza.