Bya Ssemakula John
Mogadishu
Omujaasi w’ eggya lya Uganda People’s Defence Forces (UPDF), Corporal Simon Agaba ku Mmande yavudde mu mbeera nakuba banne basatu amasasi agabatiddwe e Mogadishu mu Somalia gyebasindikibwa okukuuma emirembe.
Omwogei wa UPDF ow’ekibinja kino e Somalia, Capt George William Musinguzi agamba nti enjega eno yaguddewo ku ssaawa 12 ez’okumakya nga Agaba asindikiddwa okugenda ayambeko okukuuma ekisaawe ki Aden Adde International Airport, naye tebamanyi kyamutanudde nakuba munne gweyasanzeewo amasasi namutta.
Abagenzi kuliko Lance Corporal Christopher Kigongo, Lance Corporal Lord Charles Mangwi ne Private Charles Akatwongyera.
Kigongo essasi balimukubye mu kifuba ate Mangwi yabadde agezaako okulingiza nebamukuba amasasi asatu mu mutwe ate Akatwongyera balimukubye mu mugongo nga agezaako okwetegula ekibabu.
Okusinziira ku Capt. Musinguzi oluvannyuma basobodde okumusinza amaanyi nebamuggyako emmundu era wano yasabye abajaasi naye bamutte oluvannyuma lw’okuzuula ensobi egyeyabdde akoze.
Capt. Musinguzi agamba nti bakuzuula ekituufu ekyaviiriddeko omujaasi ono okuva mu buntu bwatyo nasaasira ab’enganda z’abagenzi.
Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2019 era waliwo omujaasi eyava mu buntu nakuba nakuba munne amasasi agamuttirawo naye oluvannyuma neyetta.
UPDF ebadde mu Somalia wansi w’Amagye ga African Union okuva mu 2007 nga basindikibwayo okusobola okuzza emirembe mukitundu kino olwa batujju ba Alshabaaba abali beefudde ekirala.