Kkooti enkulu etuula mu Kampala eragidde gavumenti esasule mbega w’ekitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO obukadde 250 lwakutulugunyizibwa.
Mu nsalawooye, omulamuzi Michael Elubu yagambye nti Simon Peter Odongo eyakwatibwa nga May 05 nga avuunaanibwa okugezaako okukuba amasasi abasirikale ba UPDF abaali ku mulimu gw’okugaba emmere mu Kampala, yatulugunyizibwa ebitagambika.
Ono, Mukyalawe Caroline Odongo yateeka okusabakwe mu kkooti nga ayagala eragire akulira Poliisi Martin Okoth Ochola, akulira Chieftaincy of Military Intelligence, Abel Kandiho wamu ne Ssaabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga baleete Odongo mu kooti avuneenibwe.
Omulamuzi yayisa ekiragiro kino nga June 2 kyokka bano baakiziimuula.
“Obutasukka ssaawa 48 oluvanyuma lw’ekiragiro kino, muleete Odongo mu kkooti oba sikyekyo mumute mbagirawo,” Omulamuzi Elubu mu nsalawooye ng’ayitira mu muwandiisi wa kkooti Dr Alex Mushabe bweyalagidde.
Ono siye muntu asoose okutulugunyizibwa ab’ebyokwerinda era kkooti n’eragira gavumenti esasule obukadde bw’ensimbi.
URN