Bya Ssemakula John
Kampala
Omupoliisi ku poliisi ya Jinja Road, atomeddwa owa boodabooda n’afa nga yaakatuusibwa mu ddwaliro e Naguru oluvannyuma lw’okugezaako okumukwata kafyu.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire, yategeezezza nti omugenzi ye Okwera Opobo Jacob ow’emyaka 34 era ng’ali nnamba 50415.
Kigambibwa nti ku Ssande ku ssaawa nga 5 ez’ekiro, Opodo yagezezzaako okuyimiriza owa boodabooda John Byamukama eyabadde atisse abasaabaze babiri ng’atambulira ku Pikipiki nnamba UEG 347/B okuliraana poliisi ya Jinja Road.
Wabula kiteeberezebwa nti Byamukama yatomedde Opodo mu bugenderevu era n’afuna ebisago ebyamaanyi.
Omupoliisi ono yaddusiddwa mu ddwaliro lya Naguru China Hospital okujjanjaba, ebyembi n’afiirayo.
Poliisi yategeezezza nti abasaabaze ababiri Byamukama be yabadde asitudde baddusiddwa mu ddwaliro e Mulago wabula ye John Byamukama n’aggalirwa ku poliisi ya Jinja Road ku misango egyekuusa ku butemu.
Owoyesigire yagambye nti omulambo gw’Omupoliisi ono gwatwaliddwa mu ggwanika e Mulago okusobola okugwekebejja ate nga fayiro ya Byamukama eteeekebwatekebwa asobole okutwalibwa mu kkooti.
“Tulabye okusiiwuuka empisa mu ba boodabooda, buli lwe batuuka poliisi w’ebeera esudde emisanvu, emirundi egisinga bano batomedde abapoliisi abamu ne bafuna ebisago ate abalala bakafiiriddemu.” Owoyesigire bwe yagambye.
Mu mwezi Gwokutaano omwaka guno, omupoliisi Innocent Ayesigye naye yakoonebwa n’afa e Namanve ku Jinja Road. Ayesigye yali akolera ku poliisi y’e Seeta ng’avuga Pikipiki ya poliisi nnamba UP 2164.