Bya Ssemakula John
Kampala
Omuyimbi w’Afrigo, Sammy Kasule, eyayimba ennyimba nga; Kitoobero, Njabala ne Ziwuuna, yafiiridde mu kibuga Amsterdam ekya Netherlands eggulo ku Lwokubiri.
Okusinziira ku kiwandiiko ebyafulumiziddwa aba Afrigo Band, Sammy yabadde mu lugendo ng’agenda mu ggwanga lya Sweden okufuna obujjanjabi naye bwe baayimiriddeko mu Amsterdam, abakugu ne bakizuula nti ono yabadde takyasobola kweyongerayo.
“Mu nnaku ennyingi tubika abadde omusunyi w’endongo, Sammy Kasule, “ Afrigo bw’etegeezezza mu kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero. Abamu ku bannabitone bavuddeyo ku mitimbagano egy’enjawulo ne balaga okunyolwa olw’okufa kwa munnaabwe.
Allan Kasujja yagambye nti, “Vundumuna Bbandi ya Kenya eyacaaka mu 80. Sammy Kasule ye yali abakulira. Twabalabanga ku VoK TV. Ennyimba zaabwe nnyingi zaali mu Luganda, twali banoonyi ba bubudamu mu kiseera ekyo nga tulwana okuyiga olulimi lwaffe era ennyimba za Sammy zaatuyamba nnyo.”
Ate ye omubaka Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine yayogedde ku Sammy ng’abadde eky’okulabirako mu kisaawe ky’okuyimba.
Ebyafaayo bya Sammy Kasule
Sammy, yatandika okuyimba mu 1960 mu bbandi ya Kawumba oluvannyuma lw’okusuulawo emisomo ku Light College Katikamu. Bbandi eno yakubiranga mu bbaala ya New Life bar e Mmengo. Oluvannyuma yaddukira e Kenya olw’embeera y’ebyobufuzi eyaliwo nga Amin akutte obuyinza. E Kenya yeegatta ku Les Niors, bbandi y’Abacongo mu mwaka gwa 1973.
Eno yakolerayo ennyimba nga Maria Wandika, Shauri Yako ezaacaaka ennyo mu mawanga g’Obuvanjuba bwa Afirika.
Sammy yatandika bbandi eyiye gye yatuuma Vundumuna oluvannyuma eyafuuka Makonde.
Ono yeegattibwa Philly Bongere Lutaaya kati omugenzi wakati wa 1979 era bano beeyongerayo mu ggwanga lya Sweden. Eno yaliyo bannayuganda abalala okuli; Frank Mbalire, Hope Mukasa, Joseph Nsubuga, Richard Mudungu, Fred Ssemwogerere ne Shem Makanga, beegatta ne bakola ekibiina kya Savanna.
Ekibiina kino kye kyakola oluyimba lwa Bongole olwa ‘Born in Africa.’ Ebbanga eryaddako nga banne abasinga bafudde, Sammy yeeyongerayo e Japan ne yeegatta ku Jambo Jambo Band wadde ng’oluvannyuma yaddayo e Sweden n’azzaawo Makonde bbandi mwe yakolera ennyimba nga Njabala ne Ziwuuna.