Bya Musasi
Kampala
Sipiika wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga ategeezezza ng’omumyuka we, Jacob Oulanyah bwe yadduka ekiteeso ky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze bwe twali twolekera akalulu ka 2021. Bino Kadaga yabyogeredde mu nsisinkano gye yabaddemu n’ababaka olunaku lw’eggulo e Munyonyo ku Speke Resort atongozza kkampeyini ze ez’okuddamu okubeera Sipiika.
“Okutandikira ddala, saali mu ggwanga nali ng’enze mu Amerika. Bwe nali nkomawo n’empita e Bungereza kuba Abateeso abali emitala w’amayanja baali bampise njogereko gye bali. Bwe nali eyo Oulanyah n’ankubira ng’angamba ekyali kiriwo yali takisobola kikwasaganya, y’ansaba nkomewo mu bwangu kuba byali bimulemeredde.” Kadaga bwe yategeezezza.
Kadaga agamba nti yakyusizaawo n’akomawo era omulundi ogwasooka, ababaka babalemesa okukola era n’abaleka. Ku mulundi ogwokubira era baalemesebwa ku gwokusatu waliwo eyajja ne basitoola naye n’abakakasa nti ensonga eno erina okuggwa. Kyokka mu kaseera kano omumyuka we yali atidde ng’afulumye eggwanga. Kadaga era yanokoddeyo omulundi gw’emizannyo gya Palamenti ezaali mu luse olumu ne Bungereza nti wadde yali asabye Oulanyah okukubiriza Palamenti naye era yamujeemera.
“Ssabbiiti yennyini lwe twateesa ku bbago lya Ssukaali n’ebikajjo, Pulezidenti Museveni yatusaba okumusisinkana e Busoga okukubaganya ebirowoozo ku nsonga eno. Namugamba nti ebbago lya Ssukaali kkulu gyendi era ne musaba akubirize Palamenti era n’agaana. Oluvannyuma yampandiikira ng’agamba tawulira bulungi era n’agenda Decemba yenna teyaliiwo.” Kadaga bwe yagasseeko.
Kinajjukirwa nti waliwo amaloboozi agaawulirwa nga ganenya Kadaga olw’okulemesa omumyuka we okubaako enkiiko z’akubiriza. Muno mulimu jjuuzi, Sipiika lwe yafiiriddwa omu ku booluganda lwe, abamu ku babaka ne bamusaba aleke Oulanyah akubirize enkiiko asobole okufuna akadde akakungubaga.
Ekyaddirira ye Oulanyah okuggyayo olutuula luno n’ategeeza nti kino yali akikoze ng’ayagala okukungubagira awamu ne Sipiika Kadaga. Kaweefube w’okufuna Oulanyah okuttaanya ku nsonga eno teyasobose wadde ng’ensonda mu woofiisi ye zaategeezezza nti ebyogerwa Kadaga si bituufu era nga biswaza okulaba nti biva mu Sipiika omulamba.