Bya Ssemakula John
Kampala
Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Party (FDC), Patrick Oboi Amuriat asabye Minisita w’ensonga zoomunda mu ggwanga, Gen. Kahinda Otafiire alekulire ekifo kye kuba ebigambo by’ayogera si bya buvunaanyizibwa wakati ng’abantu bafiirwa obulamu bwabwe mu butemu bw’ebijambiya.
“Njagala Otafiire ayimirire ng’omusajja bw’aba akkiriza nti y’omu ku baanunula eggwanga lino, alekulire emirimu gye kubanga talaga kifaananyi kirungi eri bannayuganda.” Pulezidenti Oboi bw’agambye.
Bino Amuriat abyogeredde mu lukung’aana lwa bannamawulire lw’atuuzizza ku kitebe ky’ekibiina e Najjanankumbi era asinzidde wano n’akulembera omukolo gw’okulayiza abakulembeze b’ekibiina abaggya.
Kino kiddiridde Otafiire okutegeeza nga Masaka bwe yalimu emirembe nga balonda aba NRM naye embeera etabanguse lwakuba nti, mu kalulu akawedde aka 2021 tebaalonda NRM.
Asabye bannayuganda okwegatta ku kibiina kya FDC okubanja obwenkanya kuba ensimbi nnyingi zisaasaanyizibwa okunyweza ebyokwerinda
Amuriat asabye gavumenti okunoonyereza ku bantu abali emabega w’ettemu lino kuba eby’okukwata ababaka okuli Muhammad Ssegiriinya ne Allan Ssewanyana, bipange nga byagendererwamu okuwugula bannayuganda.
Amuriat agamba nti ekibiina kyabwe kiyise mu kusoomoozebwa nga bangi ku bannakibiina bakyabulidde naye ng’ekibiina bakyali bagumu era bajja kugenda mu maaso, kuba emisingi kwe bayimiridde minywevu.
Ku bakulembeze abaggya abalayiziddwa, Oboi Amuriat alabudde Pulezidenti Museveni nti basimbudde era baakugenda mu maaso n’okulwanyisa obukulembeze bwe obutali bwa bwenkanya era banunule bannansi.
Ono asinzidde wano n’asaba abantu bonna abaagala enkyukakyuka mu bibiina byonna awamu ne NRM, okumanya nti enzigi z’ekibiina nzigule okubaaniriza era bakolere wamu.
Abakulembeze abaggya abalayiziddwa mulimu; Omuloodi Erias Lukwago eyalondeddwa ng’amyuka Pulezidenti w’ekibiina mu Buganda oluvannyuma lwa Owek. Nabbosa Ssebuggwawo okuweebwa ekifo kya Minisita omubeezi owa tekinologiya.
Bw’abadde alayira, Omuloodi aweze okukozesa obukugu bw’alina okusobola okulaba ng’atumbula ekibiina mu ggwanga wakati mu kugendera ku mateeka agafuga ekibiina.
Abakulembeze abalala abalayiziddwa ye mubaka omukyala owa Soroti, Anne Adeke okubeera omumyuka wa Pulezidenti mu buvanjuba ate eyali omubaka Hassan Kaps Fungaroo yalondeddwa okubeera omukunzi w’ekibiina awamu n’abalala.
Fungaroo y’asikidde Ingrid Turinawe eyajeemera ekibiina ne yeesimbawo ku bwannamunigina oluvannyuma lw’okuwangulwa mu kamyufu k’ekibiina mu 2021.