Bya Ssemakula John
Kkooti y’ensi yonna leero ku Lwokuna esibye eyali omuduumizi w’abayeekera ba Lord’s Resistance Army (LRA), Dominic Ongwen, emyaka 25 ku misango 61 gye yasingisibwa gye buvuddeko omwali emisango gy’okutyoboola eddembe ly’abantu.
Omukambwe ono Dominic Ongwen, ow’emyaka 45 eyamanyibwa nga “White Ant” yasingisibwa emisango egy’enjawulo okuli; ettemu, okukaka abakyala omukwano wamu n’okuwamba abakyala n’abakozesa mu bikolwa by’omukwano wakati w’emyaka gye 2000 era ng’ono ne banne baali baduumira Joseph Kony.
Abawaabi ba kkooti y’ensi yonna yali asabye Ongwen asibwe emyaka 20 nga bagamba nti ono yakakibwa n’ayingizibwa mu bikolwa bino nga noolwekyo tasaana kusibwa myaka 30 naye leero ono asibiddwa emyaka 25.
Oludda oluwawaabirwa lwali lusabye emyaka 10 ku by’okulumba enkambi z’ababuudabuuda mu mambuka g’eggwanga wabula abamu ku bantu Ongwen be yalumya baali basabye kkooti eno emusibe bulamu bwe bwonna.
Ongwen yategeeza kkooti eno nti aba LRA baamukaka okulya ebijanjaalo ebinyikiddwa mu musaayi gw’abantu be yali alagiddwa okutta okusobola okumuyingiza ku kibinja kyabwe era mu kaseera kano yalina emyaka 9 gyokka.
Kinajjukirwa nti ekibinja ky’abayeekera bano kyatandikibwawo emyaka 30 egiyise era kyatandikibwa eyali yeeyita Nnabi Joseph Kony eyatandika okutirimbula abantu ng’alwanyisa obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni.
Ono ekibinja kye kyali kitambulirira ku biragiro 10 ebya Bayibuli era olutalo olwaliyo lwaleka abantu emitwalo 10 nga bafudde ate abaana emitwalo 6 nga bawambiddwa. Bano beeyongerayo mu Sudan, Congo ne Central African Republic.
Bwe baali bawa ensala yaabwe mu February, abalamuzi baalaga nti ebyazuulibwa byalaga nti Ongwen yalagira abayeekera be yali aduumira okutirimbula abantu abasoba mu 130 ku byalo okuli; Lukodi, Pajule, Odek, n’enkambi ya Abok wakati wa 2002 ne 2005. Bano baggalira abantu mu mayumba gaabwe ne babakumako omuliro ate abakyala ne balagirwa okwetikka omunyago gwa LRA ne babalesaawo abaana baabwe.
Ongwen ye muyeekera omukulu owa LRA asoose okuvunaanibwa kkooti y’ensi yonna ne gumusinga. Eyakuliddemu okudda oluwaabi Colin Black agamba nti olw’okuba Ongwen yakakibwa ng’omwana okuyingira mu buyeekera, tekimwejjeereza misango gya kulinnyirira ddembe ly’abantu era abadde alina okuweebwa ekibonerezo ekigwanidde.
Ongwen yeewaayo mu kino gy’abajaasi ba Amerika abali banoonya mukama we, Joseph Kony mu ggwanga lya Central African Republic mu mwaka gwa 2015 era bw’atyo n’atwalibwa mu kkooti y’ensi yonna okuvunaanibwa.