Katikkiro akyaliddeko omukadde Nakabazzi Gertrude owe Nabweru, amanyiddwa nga Jjajja Kalaala, omujjumbize mu kwetaba mu misinde gyamazaalibwa ga Kabaka. Asabye abantu ba Buganda okutwala eky’okulabirako kya Mukyala Nakabazzi eky’omwoyo gwa Buganda ogutafa.
Omukadde ono Nakabazzi Gertrude yakadduka emirundi etaano bukyanga emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka gitandikibwaawo era nga aweza egy’obukulu 89.