Bya Ssemakula John
Bulange -Mmengo
Mmeeya w’eggombolola y’e Lubaga, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, akunze bannamikago abalwanirira okutaasa obutonde bw’ensi okukwatagana n’Obwakabaka bwa Buganda, kibasobozese okukuuma ekyo ekikyasigaddewo.
![](https://gambuuze.ug/wp-content/uploads/2021/03/159975659_3810036325741599_6594143860727154014_n.jpg)
Okusaba kuno, Owek. Nabbosa, akukoledde mu bimuli bya Bulange bw’abadde aggulawo omwoleso gw’Obutonde bw’ensi wamu n’okunnyikiza enkola y’okusimba emiti n’okuzzaawo ebibira leero ku Lwokutaano.
“Ffe ekitonde ekimu Katonda kye yatonda twonoonye Katonda bye yatuwa mu kwagala. Tulina obuvunaanyizibwa bunene okulaba nti tetwongera kunyiiza Katonda nga tulwanirira obudde.” Owek. Ssebuggwawo bw’agambye.
Omwoleso guno gumu ku bikujjuko ebyategekeddwa okujaguza Ssabbiiti y’amazzi mu Uganda ne Buganda.
Owek. Nabbosa asabye abantu okufaayo ku nkung’aanya y’akasasiro wamu n’ebicupa ebisuulibwa mu myala kuba kino ky’onoona amazzi era ng’ebyazuuliddwa biraga nti abantu ebitundu 37.7 ku buli 100 bakozesa amazzi agalimu obuwuka.
Ono asabye Minisitule ya gavumenti eyaawakati okwongera okubunyisa amazzi amayonjo n’okwongera okusomesa abantu ku kumansa ebintu ebyonoona amazzi.
Omukolo guno gwetabiddwako Sipiika w’olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule n’asaba gavumenti erwane nnyo okumalawo abakungu baayo abeegumbulidde okwesenza mu ntobazzi kuba bafuuse bannatagambwako.
Ate ye Owek. Mariam Mayanja Nkalub, asabye abantu okwettanira okuddamu okukozesa pulasitiiki abeera asuuliddwa ng’obucupa awamu ne kasasiro nga bamukolamu ebigimusa.
Bo bannamikago wamu n’abantu, beebazizza Obwakabaka olw’enteekateeka y’omwoleseo guno era ne beeyama okwongera okukolagana nabwo okuzzaawo obutonde bw’ensi.
Owek. Joyce Nabbossa Ssebuggwawo, Minisita Mayanja, n’abakungu abalala balambudde egimu ku middaala kkampuni ezitali zimu mwe zoleserezza ebintu ebyo ebiyambako okukuuma obutonde bw’ensi. Ebitongole ebyolesezza kuliko ekya NEMA, Solar Now, Oxfam ne CAN n’ebirala.