Musasi waffe
Obwakabaka nga buyita mu kitongole ky’eby’obulambuzi, bwebazizza kkampuni n’abantu ssekinnoomu abayolesa mu mwoleso gwa Buganda ogw’omwaka oguwedde 2019 ogwali mu Lubiri e Mengo.
Okusinziira ku Nnaalinnya Carol, akolanga Ssenkulu w’ekitongole ky’eby’obulambuzi, ekikolwa kino kigendereddwamu okwebaza aboolesi wamu n’okuwuliriza ebirowoozo byabwe ku ngeri gyebandyagadde omwoleso gutegekebwemu.
Bwabadde abakwasa satifikeeti zino, Minisita w’obuwangwa ennono n’obulambuzi, Oweek. David Kyewalabye Male asuubizza nti omwoleso gw’omulundi guno gwakutegekebwa ku mutindo omulungi oguweesa obwakabaka ekitiibwa.
“Omwoleso guno gwagungibwaawo okusobola okwolese emirimu egyo egikolebwa abantu ba Kabaka okugiteeka ku lutimbe abantu basobole okugiraba,” Kyewalabye bwagambye.
Agasseeko nti bagenda kussaawo akakiiko akanaabeera akasaale mu kutegeka omwoleso guno.
Omwoleso gw’omwaka guno gwakubeerawo okuva nga 23 okuttuka nga 27 Ssebaaseka.