Bya Pauline Nanyonjo
Nkumba – Busiro
Ssettendekero wa Nkumba avuddeyo ku kusitula embeera z’omwana omuwala.
Mu kaweefube w’okusitula omwana omuwala mu Buganda ne Uganda okutwaliza awamu, ettendekero lya Nkumba University lyegasse ku Bwakabaka ne Woofiisi ya Nnaabagereka, ne likuba olukungaana olugendereddwamu okusitula embeera z’omwana omuwala akyali mu ssomero nga olukungana luno luyindidde mu ttendekero munda e Nkumba mu Busiro, wansi w’omulamwa ‘Okusitula Obusobozi bw’omuwala akulembere era awangule’.

Omumyuka wa Katikkiro asooka Oweek Prof Twaha Kaawaase Kigongo y’atuusizza obubaka bwa Nnaabagereka atasobodde kwetaba ku mukolo. Mu bubaka bwe, Nnaabagereka Sylivia Nagginda, akulembezza nnyo ensonga y’Obuntubulamu mwamenyedde ennyingo taano okuli ensonyi, obuvunaanyizibwa, okweyimirizaawo, obukulembeze n’okufa ku bannaabwe nga abawala, kyannyonnyodde nti teri muntu asobola kwemerusa ate ne yeyimirizaawo yekka, mu buli ngeri aba yetaaga abalala baatambula nabo n’abasaba okutwala obuntubulamu nga ensonga enkulu bwetyo.

Nnaabagereka akuutidde abayizi abawala ku Ssettendekero wa Nkumba okumanya omuwendo n’ekitiibwa kyabwe kuba tebavvuunulwa lwa bitabo bye basoma byokka wabula bavvuunulwa ku lw’ekyo ekyabatondebwa okukola ate n’ebakikola nga tebeetiiriridde.
Wano w’asinzidde okukubiriza abawala bonna okukuuma omuwendo n’ekitiibwa kyabwe. Ku nsonga z’okusoma kw’omwana omuwala, Nnaabagereka alaze nti buli muwala agwanidde okusoma si lwakufuna mirimu wabula okufuna eddoboozi lye ettongole, n’akubiriza abo abalina omukisa gw’okusoma digiri okugukozesa bazifune kyokka bazigobereze empisa n’emirimu gy’omumutwe gya nnyonnyodde nti gyakubatwala buli gye beegomba.

Amyuka Ssenkulu wa Nkumba University Professor Jude Lubega, agambye nti olukungaana lw’okusitula omwana omuwala nga luno, lugendereddwamu okutumbula enneeyisa ezisaanidde mu bawala b’omulembe guno olw’ensonga nti omwana omuwala akuziddwa obulungi, ensi yonna eba ekuziddwa bulungi kale ono yeyamye okukuguza ekirowoozo kino eri amatendekero gonna beenyigirire mu kaweefube ono abawala bazzibwemu amaanyi.
Akulira abayizi ku lukiiko lwa National Students Association Shilla Ainembabazi alaze okwennyamira olw’ebbula lya bataata mu maka ekiviiriddeko abaana abawala okukula nga tebalina babalungamya n’ebavaamu nga tebalina mpisa ekiteeka eggwanga mu katyabaga.

Ono mu ngeri y’emu asabye abalwanirira eddembe ly’abawala okulowooza mu mwana omulenzi.Nassanga Hannah nga yeyavaayo n’omulawa gw’okutumbula embeera z’omwana omuwala annyonnyodde nti yayagala okuzzaamu banne amaanyi baleme kupondooka era bagguse emisomo gyabwe.Ku mukolo guno. Oweek Twaha Kaawaase atongozza ekibiina ki Girl Empowerment Club ekiruubirira okukumaakuma abayizi mu lugendo lwabwe olw’okufuuka abakyala ab’Ensa mu Nsi.









