Musasi waffe
Minisita w’Ettaka, Obulimi, ne Bulungibwansi, Oweek. Mariam Mayanja Nkalubo, akulembeddemu omukolo gw’okutuuza Omwami w’Essaza lye Mawogola omuggya, Owek Muhammad Sserwadda n’abamyukabe.
Omukolo ogubadde ku mbuga y’essaza e Mawogola, Sembabule.
Bwabadde abatuuza, Oweek. Mayanja asibiridde Sserwadda n’abamyukabe
okukuuma ebintu by’Obwakabaka nga embuga, ebitawululuzi nebirala.
“Obwakabaka bulina Ettaka lingi wano e Mawogola, liteekwa okulondoolwa, okulabirira Obulungi, okulikuuma n’okulikozesa mu bweerufu okuleeta enkulaakulana,” Mayanja bwategeezezza.
Minisita era abakubirizza okukola nga Bulungibwansi mu bitundu gyebabeera obutasanyaawo ntobazi, emigga, okusimba emiti gy’ebibala wamu n’eginnansagwa.
“Mujumbire nnyo enteekateeka z’Obwakabaka nga, Okunyweza Obusenze ku ttaka nga mu saasula obusuulu, Mmwanyi Terimba, Okwewala obulwadde bunamutta nga Sirimu, Hepatitis B, Okukuma olulimi Oluganda n’Obutonde Bwensi,” Mayanja bweyagambye.
Ono era yakubirizza eb’e Mawogola okwekolamu ebibiina by’obwegassi ng’erimu ku makubo aganabayamba okwongera omutindo ku byebakola, wamu n’okukola ennyo n’obwagazi nga batandika n’ekitono kyebalina.
“Essente temuzirya kivubi, tuyige enkola ey’okufissa, notereka, ate
n’okusiga,” Mayanja bweyagambye.
Omukolo gwetabiddwako abaami b’amasaza ag’enjawlo, Supreme Mufti Siliman Kasule Ndirangwa, bannaddiini, ne bannabyabufuzi.
Oweek. Muhammed Sserwadda azze mu bigere bya Felix Kabajjo Nsamba, Ssaabasajja Kabaka gweyasiima nawummula omwaka oguwedde.