
Bya Ronald Mukasa
Rwenzori -Fort Portal
Omwami wa Kabaka amulamulirako essaza lya Rwenzori erisangibwa mu disitulikiti ye Fort Portal, Samuel Mukiibi olwa leero atuuziddwa mu butongole era naakuutikirwa okukuuma ennono n’obuwangwa awamu n’okunyweza enkolagana ya Buganda ne Tooro.
Entanda eno emuweereddwa Minisita wa gavumenti ez’ebitundu okulambula kwa Kabaka nensonga za Buganda ebweru, oweek Joseph Kawuki bw’abadde akola omukolo gw’okumutuuza.
Minisita Kawuki amuyozaayozezza omwami ono era neyeebaza abantu ba Beene erudda eyo olwokubeera abawulize eri Nnamulondo akadde konna.
Owek. Kawuki agamba nti omuntu atamanyi gyava kizibu okumanya gyadda bwatyo neyeebaza bano olw’obutasuula Nnono na buwangwa bwabwe yadde nga bawangalira ku mawanga era kino abasabye okwongera okukikuuma.
Minisita Kawuki bano ababulidde nti obwakabaka n’obukama bwa Tooro buludde nga bukolagana bulungi bwatyo nabakubiriza okukiikirira obulungi Obuganda erudda eyo nga bakola ebiweesa Obwakabaka ekitiibwa.
Owek.Kawuki era abakuutidde okwolesa empisa mu bukulembeze bwabwe era bateesezenga mu bukakkamu era bamanye nti obukulembeze bwabwe bujja kubeeramu ebisomoozo naye balina okubisalira amagezi.
Kawuki asinzidde wano naasaba abazadde okutuuma abaana amannya ag’eggwanga lyabwe okusobola okukuuma n’okutaasa ennono za Buganda kuba bano ye Bugand ey’enkya.
Bbo abayizi abeegattira mukibiina ki Nkobazambogo erudda eyo, Minisita Kawuki abakuutide okunyweza obuwangwa bwabwe saako nokwekumira mu kusoma era beeyunire obukulembeza kubanga buli muntu mu Buganda mukulembeze.
Abakubirizza bulijjo okukozesa okwagala byebakola nga bamaze okusoma saako nokubeera abetoowaze mubukulembeze obwekika kyonna era bamanye nti Buganda eyimiridde ku bbo era bakole kyonna okugitaasa.
Bano minisita abasabye batambule nokumanya kunsonga ezitali zimu kibayambe okwewala okuwubisibwa abalyolyomi nga bagoberera ebitongole ebifulimizibwa emikutu gy’obwakabaka ne Kamalabyonna.
Alayiziddwa ku bwami, Owek Samuel Mukiibi kulwa banne, ayozaayozezza Nnyinimu Ssaabasajja Kabaka okutuuka ku myaka 31 ng’ali ku Nnamulondo ya bajjajabe, bwatyo n’amwanjulira enteekateeka zabwe ez’okutondawo amagombolola agenjawulo okufaanaganako n’ebitundu by’obwakabaka ebirala.









