• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

“Omwami wa Kabaka tabeera munafu” – Katikkiro Mayiga aluŋŋamizza Abatongole

Gambuuze by Gambuuze
April 30, 2026
in Amawulire
0 0
0
“Omwami wa Kabaka tabeera munafu” – Katikkiro Mayiga aluŋŋamizza Abatongole
0
SHARES
0
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Miiro Shafik

Mmengo – Kyaddondo

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye abamu ku batongole, nga bano be baami ba Kabaka abamukulembererako abantu be ku mutendera gw’ekyalo, ensisinkano ebadde mu Bulange e Mmengo.

Katikkiro yebazizza Abatongole olw’emirimu gye bakola mu bantu ba Kabaka ng’akikaatiriza nti bano bakulu nnyo mu kuzimba Buganda n’okunyweza obukulembeze bwa gavumenti ez’ebitundu.

“Abatongole gwe musingi gw’Obwami, ffe abatuula eno waggulu ne bwe tukola obulungi nga Abatongole tebakola bulungi, emirimu tegisobola kunyirira, Omutongole gwe musingi gw’Obwami kubanga y’abeerera ddala mu bantu ku kyalo era bayita mu mbeera ze zimu, asobola okumanya omutuuze omulimi, omulwadde, abalunzi n’abantu ab’engeri zonna. N’olwekyo njagala Obuganda butegeere obukulu bw’Omwami Omutongole kubanga gwe musingi kwe tuzimbira obwami mu Bwakabaka bwa Buganda” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti olw’okuba Obwami butandikira ku mutongole mu Buganda, ateekwa okulaga ekifaananyi ekirungi ku kyalo kw’ali , era wano awadde ensonga musanvu eziggyayo ekifaananyi buli mutongole mw’alina okulabirwa;

1. Omutongole abeera mukozi, Omwami wa Kabaka talina kubeera munafu lugojamye.

2. Omwami wa Kabaka Omutongole abeera muntumulamu, nga tamokkola bigambo, ngabyeyisa bulungi.

3. Omutongole mu maka ge mubaamu eddembe agataliimu kugugulana kwa ngeri yonna.

4. Omutongole alina okuba ng’atuukikako, abantu nga basobola okumutuusaako ensonga yonna, n’okumwebuuzaako.

5. Omutongole abeera n’abantu mu mbeera ez’essanyu n’ezennaku.

6. Omutongole yewa ekitiibwa mu nnyambala n’enneeyisa endala nga takola bimwogezaako na kusekererwa ku kyalo.

7. Omutongole agatta bonna ku kyalo kye, mu ddiini mu mawanga ne mu byobufuzi.

Owek. Mayiga asabye Abaami abatongole okwefumiitiriza ku nsonga zino ng’agamba nti embeera zaabwe n’abantu kwe basinziira okubazzaamu ekitiibwa olwo ne bagoberera n’ebyo bye babagamba.

Owek. Mayiga azzeemu okujjukiza Abatongole bano entambuza y’emirimu ku mitendera gy’obukulembeze mu Buganda, abakuutidde okutwala okulungamibwa okuva mu b’emiruka nabo kwe baggya ku w’eggombolola naye ng’akuggya ku w’essaza, nga naye alungamizibwa Minisita ne Minisita ng’alungamizibwa Katikkiro ate nga ne Katikkiro alungamizibwa Kabaka. Agamba nti ensengeka eno bajjajja kwe baasinziira okulungamya obukulembeze mu Buganda.

Katikkiro Mayiga, Abaami bano taleseeyo kubajjukiza ku nteekateeka ya Situla Omutindo era asbasabye okuginyikiza mu bantu ba Kabaka bonna bakomye okukola ebya nneemalidde, bakoze obuyiiya, obwerufu n’obunyiikivu.

“Okuweereza Kabaka buvunaanyizibwa bwaffe kubanga Buganda gye tuweereza naffe ye yaffe, ffe tugirimu naye ate okutegeera obuvunaanyizibwa obwo ssi kitone buli omu ky’alina n’olwekyo mbeebaza mmwe abaweereza Kabaka nga mugatta ku lugendo lw’okuzza Buganda ku Ntikko” Katikkiro Mayiga.

Ye Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki akuutidde Abaami abatongole bulijjo okumanyanga amawalire gonna agafa embuga era bagatuuse ku bantu ku bantu ba Kabaka kikendeeze embeera y’abo abamala gatambuza bigambo bitaliiko mutwe na magulu. Annyonyodde nti olwokuba abalabe ba Buganda bameruka buli kiseera, abantu bwe batuusibwako amawulire amatuufu, abalabe bawangulwa.

Minisita Kawuki era akubirizza Abatongole okubeera abeesimbu nga baweereza Kabaka n’abantu be, abagambye nti bwe banaaweereza mu bwesimbu n’abantu bajja kubeesiga kibayambe okutuukiriza obuvunanyizibwa bwabwe n’okwongera okwekiririzaamu.

Ensisinkano eno eri mu Bulange e Mmengo, yetabiddwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki, Abalezi b’Amasaza ag’enjawulo n’Abatongole abaawuddwamu emiteeko egy’enjawulo; abaasinga okukunganya oluwalo, abasinga obuto, abakulembera ebyalo ebirimu ebintu bya Buganda eby’enkizo n’emirala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.