• Tutukiriire
Gambuuze
Advertisement
  • Omuko Ogusooka
    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Owek. Mayiga akubirizza abakulira Abasomaali okwenyigira mu nteekateeka z’ Obwakabaka

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Minisita Anthony Wamala akubirizza abantu okuwandiika ebibakwatako okukuuma omukululo

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    Owek. Mayanja akunze abantu okukuuma Obutondebwensi

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    KITALO! Akabenje katuze 5 e Soroti

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Ab’e  Masaka balaajanye mu muwendo gwa baana ogweyongedde

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Kaggo Magandaazi atuuzizza Abaami b’emiruka, Abasabye okukuuma  ekitiibwa kya Buganda

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Abantu ba Beene basabiddwa okutumbula obuyonjo nga bayita mu Bulungibwansi

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Olukiiko olutegesi lulambudde ekifo awanaakwatirwa olunaku lw’Abavubuka mu Buganda

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

    Owek. Kakomo asabye abantu okunnyweza Obumu

  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo
No Result
View All Result

Home Amawulire

Omuzira n’Omujulizi Ani Asinga..?

Gambuuze by Gambuuze
September 22, 2025
in Amawulire
0 0
0
Omuzira n’Omujulizi Ani Asinga..?
0
SHARES
270
VIEWS
Share on FacebookShare on Twitter

Bya Samuel Stuart Jjingo

Ndeeba – Kyaddondo

“Uganda ekyetaaga abazira nga tebavudde mu kuttibwa” Katikkiro Charles Peter Mayiga akubirizza Bannayuganda okwefumiitiriza ku kutemulwa kwa Ben Kiwanuka bakujjemu eky’okuyiga.

Bino abyogedde wabadde yetabye mu missa n’okusoma okutegekeddwa okujjukira Ssaabalamuzi wa Uganda eyasooka Bendicto Kiwanuka ku Pope Paul Memorial Hotel mu Ndeeba.

“Abantu abamu bagamba, kirungi okubeera omuzira n’otaba mujulizi kubanga abajulizi bangi tebajjukirwa, era kirungi nti Ben Kiwanuka tumujjukidde” Katikkiro Mayiga

Owoomumbuga atenderezza obuweereza obumalirivu n’obuvumu bwa Kiwanuka era akinoganyiza nti bannayuganda beetaga okulaba ekitongole ekiramuzi nga kitaputa amateeka mu ngeri ey’obwenkanya.

“Ebyafaayo by’ensi zonna biraga nti obwetengereze bw’ekitongole ekiramuzi n’enfuga etambulira ku mateeka gwe musingi ogukulaakulanya abantu n’ensi ze babeeramu.” Katikkiro Mayiga.

Kamalabyonna agamba nti okutemula kwa Ssaabalamuzi kubeere kyakuyiga eri abantu bonna nga kubajjukiza okubeera abenkanya, okussa ekitiibwa mu ddembe ly’obuntu, okulumirwa ensi n’okunyweza enfuga etambulira ku mateeka, n’okwewala embeera zonna ezivaako okutyobola eddembe ly’obuntu n’okutwalira amateeka mu ngalo.

Omwogezi ow’enjawulo mu nteekateeka eno, Dr. Jim Spire Ssentongo agamba nti newankubadde teyaliwo mu biseera bya Bendicto Kiwanuka naye asomye ebitabo eby’enjawulo ebimwogerako nnyo ng’omuntu eyabanjanga gavumenti obukulembeze obw’amazima n’obwenkanya wabula mweralikirivu nti abaana b’ennaku zino basigalidde kulabira ku babbi n’abakumpanya abajjudde mu ggwanga.

Dr. Spire agamba nti olw’okuba nti Omulamuzi Kiwanuka yali ayayanira obwenkanya y’ensonga lwaki yakwatagana nnyo n’abo abalina obuyinza okugeza nga abakulembeze b’amatwaale, Ssekabaka Muteesa II, abakulembeze b’eddiini ebiseera ebyo n’abalala.

Omusumba ow’essaza ekkulu ery’e Masaka Serverus Jjumba, nga y’akulembeddemu mmisa, agamba nti alina omukisa okuba nga yasisinkanako Bendicto Kiwanuka nga mwana muto ne yegomba engeri gye yali yekwatamu, n’ekitiibwa ekyali kimuweebwa abantu.

Omusumba Jjumba akikaatiriza nti obwenkanya bwe buzaala emirembe era kisaanidde okwefumitiriza wa eggwanga weriyimiridde ku kwetongola kw’essiga eddamuzi wakati mu kaseera omuli ekiwamba bantu, ekibba ttaka, okukwata abantu awatali kye bakoze n’ebirala.

Emmisa n’omusomo guno bitegekeddwa ekitongole ky’Obwenkanya n’Emirembe eky’e ssaza lya Ekelezia ekkulu erya Kampala wansi w’omulamwa “Tusonyiwe ebibi byaffe, tuwe emirembe.”

Omusomo guno gwa mulundi gw’akuna ku gitekeddwa ku kujjukira omulamuzi Bendicto Kiwanuka nga gyatandikiibwawo munnamateeka omugenzi John Baptist Kakooza.

Katikkiro eno awerekeddwako Baminisita ba Kabaka okuli; Ssaabawolereza Oweek. Christopher Bwanika, Minisita wa Kabineeti Oweek. Noah Kiyimba, Minisita w’Amawulire Oweek. Israel Kazibwe Kitooke, Katikkiro eyawumula Oweek. Mulwanyamuli Ssemwogerere n’abantu abalala.

Share this:

  • Tutukiriire

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.

Welcome Back!

Login to your account below

Forgotten Password?

Retrieve your password

Please enter your username or email address to reset your password.

Log In

Add New Playlist

No Result
View All Result
  • Omuko Ogusooka
  • Agafa e Mengo
  • Emboozi
  • Endowooza
  • Ebisanyusa
  • Ag’Ebweru
  • Ebyemizzanyo

© 2021 Gambuuze - Obwakabaka bwa Buganda.