Oluvanyuma lw’okuwonera awatono okuddayo mu kibinja kya wansi, ttiimu ya Police F.C eyongedde okwenywezza bwewadde abamu ku bazannyi baayo endagaano empya.
Ku Lwokubiri, endagaano ey’omuzibizi Joseph Ssentume yaziddwa buggya okumala emyaka emirala 3.
Ssentume ye kapiteeni wa ttiimu eno era yakola kinene okugiyamba okumalira ku kifo eky’ e 13. Ono asuubizza okwongera ku mutindo kisobozese ttiimu okukola obulungi.
Ssentume yeegasse ku basambi abalala abayongeddwa endagaano ye; Yusuf Ssozi, Johnson Odong, Mubaraka Nsubuga , Edward Kiryowa, Dennis Rukundo, Bashir Kabuye ne Musa Matovu.
Ku bano poliisi egasseeko abasambi abapya okuli; Tonny Mawejje, Hassan Muhmood, Tom Ikara Eric Ssenjobe ne Muwadde Mawejje okwongera okwenyweza.