Bya Ssemakula John
Kampala
Omuyimbi Joseph Mayanja amanyiddwa nga Jose Chameleone alabudde akulira ekibiina kya National Unity Platform (NUP), Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), akomye okuyita abayimbi abasabiriza buli lwe bagenda okusisinkana akulira Wealth Creation, Gen. Salim Saleh.
Kyagulanyi azze avumirira abayimbi b’agamba nti bafuuse abasabiriza mu nsi yaabwe olw’okugaana okuyimirira ne bannayuganda abanyigirizibwa embeera mu ggwanga.
Emyezi gyonna egiwedde abayimbi ab’enjawulo babadde basisinkana Gen. Salim Saleh e Gulu nga baagala bayambibweko mu mbeera y’ebyobulamu.
“Ekigambo ky’otuyita abasabiriza kyali kyakunyoomoola bayimbi bonna era kino kye kimufudde ne kyali. Okutuyita abasabiriza kyali kikyamu kuba naye yeetooloola eggwanga lyonna ng’asabiriza obululu. Ye lwaki teyasigala ewaka.” Mayanja bw’abuuzizza.
Ono asabye Kyagulanyi okumanya enjawulo wakati w’ebyobufuzi n’okuyimba kuba abayimbi beetaaga okulya.
“Tetwagenze Gulu kusabiriza ssente, Salim Saleh anyumirwa bye tuyimba era alina obuyinza okutuyita n’atugatta okusobola okutumbula omulimu gwaffe kuba muganda we ye Pulezidenti w’eggwanga.” Chameleone bw’annyonnyodde.
Chameleone agamba nti waliwo ebifaananyi ku mutimbagano nga Bobi Wine ali ne Salim Saleh, naye ensi ekitwale nti yali amusabiriza, we yakifunira!