Bya Musasi Waffe
Nakawa
Kiraabu y’omupiira eya URA F.C eyanjudde omuwuwuttanyi Jackson Nunda ng’ omusambi waayo era nga awereddwa endagaano y’emyaka esatu nga ali ku ttiimu eno.
Nunda abadde talina ttiimu mukadde kano oluvanyuma lw’endagaano ye ne ttiimu ya KCCA F.C okugwako sizoni ewedde.
Oluvanyuma lw’okuteeka omukono ku ndagaano Nunda yagambye nti yasazeewo okugenda mu URA kubanga kiraabu eno erimu okuvuganya okwamanyi nga naye kijja kumuyamba okwezimba nga omusambi.
“Ndi wano okuwangulira ttiimu yange empya eya URA ebikopo wadde nga kimanyi nti tebigenda kubeera byangu.” Nunda bweyategezezza
Ono ye musambi URA gwesoose okwanjula ku katale k’abazannyi ak’omurundi guno era nga ono ennamba wakugirwanira n’abasambi Saidi Kyeyune ne Shafik Kagimu.