Musasi Waffe
Omuweereza wa Ssaabasajja Kabaka agattiddwa mu bufumbo obutukuvu. Esther Ruth Namukasa yagattiddwa ne munne Richard Kitaka mu Lutikko ya Paul omutuukirivu e Namirembe. Rev. Abbel Mmereewooma yeyakoze omukolo ogw’okubagatta.
Yabasibiridde entanda ey’okubeera abakkakamu era buli muntu agumiikirize munne kubanga baakulira mu maka ga njawulo agalina enneeyisa, empisa n’endabamu y’ebintu ey’enjawulo.
Katikkiro Charles Peter Mayiga yeebazizza Esther olwemirimu gy’ObwaKabaka gyakola, era naamusaba agende mu maaso. Kamalabyonna yategeezezza nti ebimu kubiremesa abakozi obutanywera ku mirimu kubanga ewaka tewali mirembe.
Yasabye abafumbo okwetegekera obufumbo nga bwebeetegekera embaga, okwanjula oba okukyala kubanga bangi beerabira embeera y’omubufumbo nebatunuulira ebirala. Esther Namukasa muweereza mu minisitule y’enkulaakulana y’abantu nensonga za woofiisi ya Nnabagereka.
Omukolo gwetabiddwako; Namasole Margaret Siwoza, Ssaabaganzi, Baminisita ba Kabaka, abaweereza b’Obwakabaka nga bakulembeddwamu omuwandiisi w’enkalakkalira Nantege Josephine, n’abakungu abalala bangi.