Bya Ssemakula John
KAMPALA
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kulima emmwanyi mu ggwanga ki ‘Uganda Coffee Development (UCDA)’ kitegeezezza nga omuwendo gw’emmwanyi Uganda zeetunda ebweru w’eggwanga bwegulinnye bw’ogerageranya n’omwaka gwa 2019.
Omuwendo gw’emmwanyi ogutundibwa ebweru gwalinnye ebitundi 17 n’obutundutundu 2 ku buli 100 (17.2%) mu mwezi gwa July 2020 bwogerageranya n’omwaka oguwedde.
Okuzinziira ku kiwandiiko aba UCDA kyebafulumizza ku Lwokutaano kino kivudde ku ndokwa empya eziri ku katale wamu n’okuba nti gavumenti yakendeeza ku muggalo abalimi nebasobola okutunda emmwanyi zebabadde baterese.
Ekiwandiiko kino kiraga nti ku luno Uganda yatunze ensawo z’emmwanyi 543,251 60 mu mwezi gwa July ate nga mu mwaka oguwedde mu bbanga lyerimu yatunda ensawo 463,709.
Omuwendo guno gwe gukyasinze okubeera waggulu okuva mu mwaka gwa 1991, kino kitegeeza nti Uganda yeyongedde okwenywereza mu nnamba bbiri mukulima emmwanyi nga kati evuganya eggwanga lya Ethiopia eliri mu nnamba emu.
Mu mwaka Uganda etunda ensawo eziwera obukadde obusoba mu 5 era nga yafuna ensimbi eziwera obukadde bwa ddoola 494 mu mwaka gw’ebyensimbi oguwedde ogwa 2018/19.
Okusinziira ku Minisitule y’ebyobulimi, omwaka 2020 wegunagwerako nga Uganda evuganya bulungi n’eggwanga lya Ethiopia kati erisinga mukulima emmwanyi mu Africa.
Bino webigidde nga Obwakabaka bwakamala okwongera amaanyi mu nteekateeka ya ‘Emmwanyi Terimba’ egendereddwamu okutumbula okulima n’omutindo gw’ emmwanyi mu masaza ga Buganda era nga kaweefube ono yatongozebwa Kamalabyonna Charles Peter Mayiga.
Kukino Buganda yagattako n’okutongoza kkampuni egenda okugula emmwanyi emmwanyi ku balimi ku bbeeyi esaanidde wamu n’okulaba nga eyongera ku mutindo gwazo.
UCDA egamba nti obungi bw’emmwanyi ezitundibwa bweyongedde ebitundu 38 ku 100 so nga ensimbi ezivaamu zirinnye ebitundu 66 ku 100.
Kati eggwanga lifuna ssente obukadde bwa ddoola 545 mu za Uganda bwe busse 1.9 okuva ku bukadde bwa ddoola 326 (Obusse 1.1) zelyafuna omwaka oguwedde era nga emmwanyi ya Uganda yatunzi nnyo mu Bulaaya n’eggwanga lya Sudan.