
Musasi waffe
Omuwendo gw’abantu abakwatiddwa senyiga omukambwe amanyiddwa nga COVID-19 gweyongedde okulinnya mu Uganda, kati baweze 18.
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni olwaleero ategeezezza eggwanga ng’ayita ku kibanjakye ekya Twitter nti abantu bana baakebereddwa nebasangibwa nga balina akawuka kano.
Museveni yagambye abantu abakunukkiriza mu 200 abaava e Duabi mu nnaku eziyise wamu n’abo abaava mu agamu ku mawanga awali kolona, bebaakebereddwa ekirwadde kino.
Museveni yategeezezza eggwanga nti gavumentiye ekola buli kimu ekisoboka okulaba ng’ekirwadde kino tekyeyongera kusaasaana.
“Neebaza abo bonna abagoondedde ebiragiro byetwayisa okulwanyisa akawuka kano,” Museveni bweyagambye.
Abana abaazuuliddwa n’akawuka baatwaliddwa mu ddwaliro e Mulago okusobola okufuna obujjanjabi.
Wesomera bino ng’omuwnedo gw’abantu abalina ekirwadde munsi yonna gweyongedde.
Abantu 552,632 bebaakatwatibwa ate 25,044 bafudde lwa Kolona.