
Bya Miiro Shafik
Mmengo – Kyaddondo
Obwakabaka bwa Buganda bweggasse ku Nsi yonna okukuza olunaku lw’abagabi b’omusaayi olubeerawo buli ng’ennaku z’omwezi 14 omwezi ogwomukaaga.
Enteekateeka entongole ey’okujaguza olunaku luno mu Bwakabaka ebadde mu luggya lwa Bulange ng’ekulembeddwamu Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Owek. Choltilda Nakate Kikomeko. Asinzidde wano n’asaba abantu okwegatta awamu okulwanyisa ebbula ly’omusaayi mu ggwanga.
“Kino ffe tulina okukyekolerako, ffe twetaaga omusaayi era ffe tulina okugugaba okusobola okwetaasa mu biseera eby’obwetaavu.” Minisita Nakate.
Owek. Nakate agamba nti Obwakabaka butadde amaanyi mu nteekateeka z’ebyobulamu naddala okulwanyisa endwadde nga mukenenya, nnalubiri n’endala omuli n’ezo ezitasiigibwa. Ategeezezza nti essira ligenda kusinga kuteekebwa ku bavubuka okulaba nti bataasibwa endwadde ez’enjawulo kubanga be basinga obungi ate be bayimiriddeko ebiseera by’Eggwanga eby’omumaaso.

“Twagala buli muntu afeeyo ku bulamu bwe, tukuume emibiri gyaffe nga gikola bulungi gibeere mu mbeera etusobozesa okugaba omusaayi ku lwaffe ne ku lw’abo abayinza okugwetaaga mu biseera ebyenjawulo” Minisita Nakate.
Ye William Mugisha akiikiridde Ssenkulu w’ekitongole ekikuŋŋanya omusaayi mu Uganda Omuky. Dorothy Kyeyune Byabazaire asinzidde wano n’agamba nti olunaku luno lukuzibwa okussa ekitiibwa mu bantu abagaba omusaayi, okwongera okukubiriza abantu okujjumbira okugaba omusaayi, n’okubamanyisa obwetaavu n’obukulu obuli mu kugaba omusaayi.
Mugisha agamba nti bbo nga ekitongole bamalirivu okwongera okukuŋŋanya omusaayi okusobola okutaasa abo abeesanga nga bagwetaaga mu biseera eby’enjawulo.Asiimye nnyo Obwakabaka bwa Buganda wamu n’ekitongole ki Kabaka Foundation olw’okuwagiranga n’okukulemberamu okukunga abantu okugaba omusaayi, era agamba Obwakabaka bugasse ettofaali ddene nnyo mu nteekateeka y’okugaba omusaayi mu Uganda.

Omwaka guno, Obwakabaka bwatandika enteekateeka y’okukuza olunaku lw’okugaba omusaayi ku Lwokubiri nga 10 Ssebaaseka era eno etambudde ennaku ttaano okutuusa leero nga 14. Minisita Nakate agamba nti ‘unit’ z’omusaayi 300 awamu mu nnaku ettaano ze zisuubirwa okukunganyizibwa.