
Bya Samuel Stuart Jjingo
Busimbi – Ssingo
Obwakabaka bwa Buganda butongozza obujjanjabi mu ddwaaliro lyabwo erya Kabaka Muteesa II e Busimbi mu Ssingo.
Ku lwa Katikkiro Mayiga, eddwaaliro ligguddwawo Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda Owek. Patrick Luwaga Mugumbule, ono asabye Bannassingo okutwala eddwaliro lino nga eky’omuwendo ekize okwongera enkulaakulaana mu ssaza lino ng’akikaatiriza nti abantu abalamu be baleetawo enkulaakulana.
Bannassingo era abajjukizza nti eddwaaliro lino Ssaabasajja Kabaka yasiima ne liggulwawo mu kujaguza emyaka gye 70 egy’ekitiibwa era lyaggulibwawo Nnaalinnya Sarah Kagere, kati nga ku mulundi guno obujjanjabi bwe butongozeddwa okutandika okuweebwa eri abantu ba Beene.
Katikkiro mu bubaka bwe era yebaziza omulimu ogw’ettendo ogukoleddwa eddwaaliro ly’e Mengo olw’okukwasizaako Obwakabaka nga buwaddeyo abasawo abagenda okukola mu ddwaaliro lino awamu ne gavumenti eyakirizza Obwakabaka okuliggulawo.

Minisita w’Ebyobulamu mu Buganda Oweek. Choltilda Nakate asabye bannassingo okwongera okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka zonna kubanga ze zivaamu enkulakulaana ng’eno ebasembereza obuweereza okuva mu Bwakabaka.
Bo abakulu okuva mu ddwaaliro ly’e Mengo, nga bakulembeddwamu ow’ebyensimbi Dr. Lukwago Julius, bagamba nti balina essuubi nti eddwaliro lino ligenda kuwa bannassingo obujjanjabi obw’omutindo era y’ensonga lwaki baleese abasawo abakugu.
Omukolo guno gwetabiddwako Minisita wa Gavumenti ez’Ebitundu Owek. Joseph Kawuki, Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Eddie Kaggwa Ndagala, Omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Abakulu Abobusolya Namwama Augustine Kizito Mutumba, Mukwenda Oweek. Deo Kagimu, abakulembeze ba Palamenti n’abassawo ab’enjawulo okuva mu ssaza n’awalala.
Wabaddewo okukebera endwadde ez’enjawulo ku bwerere nga obulwadde bw’akatungulu, omusujja, mukenenya n’ebirala.










